MINISITA omubeezi Ow’ebyokwerinda avunaanyizibwa ku nsonga z’abazirwanako Huda Abason Oleru asabye amawanga ag’enjawulo okwongera okunyweza enkolagana bwe baba baakutuuka ku nkulaakulana.
Oleru yabyogedde ayitiddwa ng’omugenyi omukulu ku yunivasite y’Obusiraamu eya IUIU) e Kibuli ku mukolo, bannansi b’eggwanga lya Turkey nga bayita mu kibiina kya Turkish Cooperation and Coordination Agency (TiKA) kwe baaweereddeyo obuyambi bw’ebyuma ebikozesebwa mu kusomesa abayizi ba ssaayansi.

Bannansi ba Turkey nga bali n'abakungu ba Yunivasite y'Obusiraamu
Ebintu ebyaweereddwayo kuliko; ebyuma ebisengejja omusaayi, ebiterekebwamu ebikozesebwa, ebipima endwadde n’ebirala nga bibalirirwamu obukadde obusoba mu 100.
Minisita yasiimye obuyambi obwaweereddwa yunivasite n’asiima enkolagana ya Uganda ne Turkey ennungi evuddemu ebibala by’ekika kino.
Ambasada wa Turkey mu Uganda, Mehmet Faith Ak agambye nti okuwaayo ebintu bakikoze olwokwagala okutumbula ebyenjigiriza eby’ekikugu n’asuubiza n’okusaka ebintu ebirala.
Amyuka akulira yunivasite ya IUIU, Dr. Jamir Sserwanga yasiimye obuyambi obubaweereddwa mu kusomesa ebya saayansi n’ategeeza nga bwe bagenda okufuba okulaba nga bakozesa bulungi ebyuma bino.