Amawulire

Aba Youth Wealth Creation okuva e Nakawa bayungudde team y'abantu 300 okuyiggira Museveni akalulu

Aba Youth Wealth Creation okuva e Nakawa bayungudde team y'abantu 300 okuyiggira Museveni akalulu 

Abamu ku baganyuddwa mu State House Wealth creation nga bawaga nti Mzee oyeeeee
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Bayungudde ttiimu kabiriiti okuva mu Youth Wealth Creation okuyiggira Museveni ne NRM akalulu.
AB’ e Nakawa bayungudde ttiimu kabiriiti ya bantu 300, okuva mu Youth Wealth Creation egenda okukulemberamu okuwenjeza mwami Museveni akalulu.
Abantu bano 300, okuba mu munisipaali ye Nakawa beegabaganyurwa mu nteekateeka ya statehouse ey'okukwasizaako abantu abakole emirimu gya wansi eya eya Youth Wealth Creation Programme ng’eno ewagirwa amaka g’obwapulezidenti okuyita mw’agavunaanyizibwaako Jane Barekye.

Abawagizi ba NRM nga bawaga

Abawagizi ba NRM nga bawaga


Basinzidde ku ssomero lya Luzira SS leero ne bategeeza nti basazeewo okwegatta wamu beetikke obuvunaanyizibwa okutandiikirawo mbagirawo eddimu ly’okutalaaga munisipaaali ya Nakawa yonna ne Kampala okutwaliza awamu okuwenjeza pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akalulu okukakkasa ng’awangulira waggulu nnyo mu Kampala mu kulonda okubidabinda.

Abawagizi ba Museveni nga bawanise ekifaananyi kye

Abawagizi ba Museveni nga bawanise ekifaananyi kye


Ttiimu eno kabiriiti ssentebe waayo ye Suzan Kansiime ng’etongozeddwa akwanaganya pulogulamu ya Youth Wealth Creation Faizal Ndase, nakkaatiriza nti abantu bano 300, baasazeewo nga beeyagalidde olw’ebirungi bye baafuna okutita mu Youth Wealth Creation, basasule pulezidenti Museveni nga bamuyiggira akalulu mu nkola ya nju ku nju.
Ndase awabuudde balowooze nnyo ku nsi yabwe Uganda ne gyevudde nga basuula akalulu k'omwaka ogujja balabire ku bano kye bakoze olwo nabo bayiira Museveni akalulu kubanga yaasobola.

Abawagizi ba Mzee nga basala omuziki

Abawagizi ba Mzee nga basala omuziki


Ssentebe wabano Suzan Kansiime eyaweereddwa obuvunaanyizibwa bw’okukulembera ekisinde kino ekigenda okuwenjeza pulezidenti Museveni ne bannakibiina kya NRM, agamba nti balina ensonga okuwagira pulezidenti Museveni ne NRM kubanga ebirungi byakoze bingi y’ensonga lwaki akyalina okusigalawo abikuume era ayongereko kuba embavu akyalina.