Pikipiki eno nnamba UMA 468 EN, kigambibwa nti esuuziddwa ababbi mu zzooni ya Masajja B ku luguudo lw'e Busaabala.
Ebyo nga bikyali ku bbali, yo poliisi e Buddo ekutte omwana ow'emyaka 16, agambibwa okuggirayo muzadde we ekiso, okumutema.
Omuzadde yawaliriziddwa okuyita abakakiiko ka LC1 mu zzooni ya Ssumba e Buddo, wamu ne OC wa Buddo Kings okumutaasa ku mwana eyabadde ataamye obugo.