Poliisi e Njeru mu Buikwe, eyigga omugoba wa pikipiki y'ekitongole kya gavumenti, agambibwa okuvuga obubi n'akoona nnamukadde ow'emyaka 85 n'amulumya.
Ebadde evugibwa omusajja atannategeerekeka bimukwatako era ng'adduse. Ye nnamukadde, atwaliddwa mu ddwaaliro ly'e Jinja, okuweebwa obujjanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Ssezzibwa , Hellen Butoto, agambye nti piki bagitutte ku poliisi okugyekenneenya nga bwe bayigga abadde agivuga .