Amawulire

Embaga ya ssentebe w'e Manyangwa B e Gayaza eyuuguyumizza ekyalo

LIBADDE ssanyu na kucacanca nga ssentebe w'ekyalo Manyangwa B ekisangibwa mu muluka gw'e Kabubbu, Kasangati tawuni kanso ng'akuba mukyala we Annet Najjemba embaga.

Embaga ya ssentebe w'e Manyangwa B e Gayaza eyuuguyumizza ekyalo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

LIBADDE ssanyu na kucacanca nga ssentebe w'ekyalo Manyangwa B ekisangibwa mu muluka gw'e Kabubbu, Kasangati tawuni kanso ng'akuba mukyala we Annet Najjemba embaga.

 

Bano ebirayiro babikubidde ku kkanisa ya All Saints Church, Manyangwa mu Busaabadinkoni bw'e Gayaza nga Rev. Wiiliam Kizimula Mpalanyi y'abagasse n'abakuutira okwagalana.

 

Ssentebe Katerege Mukristaayo so nga omukyaala Mukatuliki era olumazze okubagatta mu kkanisa e Manyangwa ne bagenda e Gayaza mu Klezia ya Our Lay of Good Council omukyala naye n'akola omukulo gw’okusembera.

 

Omukolo gubaddeko n'obugombe era bakira abagwetabyeko bakuba enduulu ey'oluleekeleeke gattako ekibiina ky'abavubuka abamannyiddwa nga ba 'Fuutu Sooja' okubonga pikipiki nga bajagulizaako mmunnaabwe ssentebe Kateregga, ekiviiriddeko ne jjaamu okukwata ku luguudo lwa Gayaaza - Manyangwa olw’abantu ababadde bamulinze ku makubo.

 

Kateregga n'eky'ebbeeyi kye batambulidde mu mottoka embikule ng'eno bw'akutte manvuuli wabula eky’okulinnya ku mottoka omugole omukyala tekimusanyusiza era asoose kukigaana kyokka bwe wayiseewo akaseera n'agondede ebiragiro bya bba naye naggyayo omutwe mu mottoka wama gwe enduulu n'eraya okuva mu balabi.

 

Ssentebe Kateregga ye mwogezi wa basssentebe mu Kasangati Towncil ate era y'akulira ekibiina kya NUP mu Muluka gw'e Kabubbu.

 

Bayisiza ebivvulu okuva e Gayaza ku Klezia okutuuka e Nakwero ku G1 Gaderns we bagabulidde abagenyi baabwe.