Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nga bwe bagguddewo ffayiro, okunoonyereza ku kavuyo akaali e Gulu, ebimu ku bitongole ebikuumaddembe mwe bigambibwa okukuba abawagizi b'ekibiina kya NUP mu wiiki ewedde.
Kigambibwa nti bino, byabaddewo, omukulembeze w'ekibiina kino, bwe yabadde agenze mu kitundu ekyo okukuba olukung’aana.
Kigambibwa nti ezimu ku mmotoka n'ebintu by'ekibiina kino, nabyo byayonooneddwa abantu abaabadde mu ngoye ezaabulijjo nga bakutte emiggo mbu nga beeyita bakifeesi.
Vidiyo zizze zisaasaanyizibwa ku mikutu egy'enjawulo ng'abaserikale mu ngoye z'amagye, n'abantu abali mu ngoye za bulijjo, bakuba abantu kibooko, ekyaleeseewo okutya.
Kituuma, agambye nti omuntu yenna eyafunye obukosefu mu kavuyo kano, wa ddembe okugenda yeekubire enduulu, kiyambeko mu kunoonyereza ku kavuyo kano, okugenda mu maaso.