Amawulire

Ssaabakunzi wa NRM e Wakiso yeepikira ekifo ekyavuddemu Walukagga

SSABAKUNZI wa NRM mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka, Hassan Sserugo agamba nti oluvannyuma lwa Mathias Walukagga okuwandululwa akakiiko k'ebyokulonda, bannakibiina kya NRM mu Wakiso bafunye amaanyi nti ekifo bakukyezza.

Ssaabakunzi wa NRM ng'awaga
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision
SSABAKUNZI wa NRM mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka, Hassan Sserugo agamba nti oluvannyuma lwa Mathias Walukagga okuwandululwa akakiiko k'ebyokulonda, bannakibiina kya NRM mu Wakiso bafunye amaanyi nti ekifo bakukyezza.
 
Walukagga yawanduluddwa akakiiko k'ebyokulonda oluvannyuma lw'okukizuula nti talina mpapula zabuyigirize zimukkiriza kwesimbawo kukifo ky'obubaka bwa Busiro East ekiwadde banna NRM amaanyi nti ekifo bagenda kukitwala.
 
Sserugo yagambye nti Haj Abdul Kiyimba eyesimbyewo ku kaadi ya NRM alina enkizo kubasigaddewo kuba alina kaadi ey'amaanyi ate ng'alina bingi bye yakola nga akyali ssentebe wa NRM mu disitulikiti.
 
Yagambye nti palamenti eriwo kuyisa mateeka, okutuusa ensonga z'abalonzi eri bekikwatako ssaako n'okusakira ebitundu, kati nti oli bwavaayo ne  yesimbawo ate nga teyasoma kiba kikolwa kya buswavu.
 
Yagambye nti Walukagga yandibadde mukulembeze mulunngi era n'amuwa amagezi addeyo asome yetereeze olwo oba oli awo mukulonda okunaddako agende okwagala okuddamu okwesimbawo ng'aterezezza buli kimu.
 
"Tulina okukkiriza nti kati ebifo ebisinga mu Wakiso tubirina okuli Busiro North, Ntebe Munisipaali, ekya ssentebe wa disitulikiti ne Busiro East eno, kuba twetesetese ekimala ate nga tunze banna NRM okuba obumu." Sserugo bweyayongeddeko. 
 
Yebazizza nnyo Pulezidenti Museveni olw'okuvaayo ne pulogulamu ezikulakulanya okuli PDM, Emyooga, ssente z'abavubuka, abakadde ssaako nabaliko obulemu zagamba nti ziyambye okukyusa embeera z'abantu mu disitulikiti.
 
Yasabye banna Wakiso naddala aba NRM okukunga bannabwe bakole enteekateeka z'okwaniriza Pulezidenti Museveni mussanyu bwanaaba anoonya akalulu mu Wakiso ate bamulonde mukulonda kwa 2026 nga bamwebaza ebyo bya bakoledde.