Amawulire

Kyagulanyi yeeyamye okukola ku bizibu by'ab'e Pallisa ssinga bamulonda ku bwapulezidenti.

Akwatidde ekibiina kya NUP bendera ku ky'Obwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu ayaniriziddwa mu maanyi mu disitulikiti y’e Pallisa.

Kyagulanyi yeeyamye okukola ku bizibu by'ab'e Pallisa ssinga bamulonda ku bwapulezidenti.
By: Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

Akwatidde ekibiina kya NUP bendera ku ky'Obwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu ayaniriziddwa mu maanyi mu disitulikiti y’e Pallisa.

Omuwagizi wa Kyagulanyi ng'ali ku bbooda agenda gye yakubye olukung'aana.

Omuwagizi wa Kyagulanyi ng'ali ku bbooda agenda gye yakubye olukung'aana.

Kyagulanyi nga tannakuba lukung’aana ku kisaawe ky’essomero lya Karako primary asoose kuggulawo ofiisi za kibiina mu ttaawuni y’e Pallisa.

Abawagizi ba Kyagulanyi nga basaanuuse mu kibuga Pallisa.

Abawagizi ba Kyagulanyi nga basaanuuse mu kibuga Pallisa.

Kyagulanyi ayaniriziddwa akwatidde ekibiina kkaadi ku kifo ky'omubaka omukyala owa disitukiti, Jane Abo ng’ono alopedde Kyagulanyi ebizibu ebisoomooza ekitundu kino okuli bammanerenda abatwala ebintu bya bantu, okugoba abantu mu ntobazzi, ebbula ly’ebikozesebwa mu malwaliro n’ebirala.

Kyagulanyi yeeyamye okukola ku bibasoomooza ssinga bannamulonda ku bwapulezidenti.

oMukazi ng'asanyuse okulaba ku Kyagulanyi

oMukazi ng'asanyuse okulaba ku Kyagulanyi

Tags:
Kyagulanyi
Ssentamu
Bizibu