Amawulire

Majembere atongozza okutimba ebipande bya Pulezidenti Museveni eby'akatundubaali mu Lubaga ne Kampala yenna

Ssentebe wa NRM e Lubaga, Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, atongozza okutimba ebipande bya pulezidenti Museveni eby'akatundubaali mu Lubaga ne Kampala yonna waake kyenvu.

Ssentebe Majambere n'ebipande bya pulezidenti Museveni byagenda okutimba mu Lubaga ne Kampala
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

Ssentebe wa NRM e Lubaga, Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, atongozza okutimba ebipande bya pulezidenti Museveni eby'akatundubaali mu Lubaga ne Kampala yonna waake kyenvu.

Majembere ng'annyonnyola ku nteekateeka y'okutimba ebipande bya Pulezidenti Museveni

Majembere ng'annyonnyola ku nteekateeka y'okutimba ebipande bya Pulezidenti Museveni

Abitongolezza ku ofiisi za NRM mu Lubaga e Mengo, ng'atandise n'ebipande ebisoba  mu 10,000 bitimbibwe  mu Lubaga ne Kampala.

Singh Katongole akwatidde NRM bendera mu Lubaga North

Singh Katongole akwatidde NRM bendera mu Lubaga North

Majambere agambye nti, abavubuka b'oludda oluvuganya gavumenti baabadde basusse okutimbulayo ebipande bya pulezidenti Museveni, nga bwayogerako afuna abamugamba ng'ebipande ebimu bwebitali bigumu nga olubyekoonako nga bigwa, kwekusalawo aleete  eby'obutundubaali ebigumu, naalabula ababitimbula, nti anaakwatibwako wakuvunaanibwa mu mbuga z'amateeka.

Majembere ng'ali ne Singh

Majembere ng'ali ne Singh

Abadde yeegattiddwaako akwatidde ekibiina Kya NRM bendera ku bubaka bwa paalamenti obwa Lubaga North, Singh Katongole,  Ono naye ategeezezza nti baagala okulaba nga Lubaga yenna atunula kyenvu okulaga pulezidenti Museveni okusiima kwabwe.

Majambere akunze banna Lubaga ne bannakampala bonna okukeera mu bungi nga 15 January 2026 bayiire pulezidenti Museveni akalulu awangulire waggulu mu Kampala, era naabasaba nti, buli amala okukuba akalulu adde ewaka ebinavaamu abirinidirire ku TV ye, eby'okukuuma n'okulangirira obuwanguzi, babirekere akakiiko keby'okulonda kuba gw'e mulimu gwako.
Yeebazizza omuwanika wa NRM mu ggwanga Barbara Nekesa Oundo, gwagambye nti abasobozesezza okutambuza obulungi kampeyini za muzeeyi era obuwagizi bungi ddala