MINISITA w'Obuwangwa, ennono n'Obulambuzi mu Buganda, Dr. Anthony Wamala asabye ebika okukulakulanya Obutaka bwabyo butuuke ku mutindo ogw'egombesa abazzukkulu.
Dr. Wamala agamba nti Obutaka bw'ebika busaanye okubeera entabiro y'enkulakulana bw'ebika mu Buganda era busaanye okuteeketeekebwa obulungi, busikkirize abazzukkulu okwetanira emirimu gy'ekika.

Minisita Dr Wamala(wakati), Omutaka Muteesasira nga Bali mu maaso g'enju ezimbibwa ku Butaka bw'ekika ky'engo
"Obutaka bw'ebika busaanye okubeera obuteeketeeke obulungi kubanga wetulabira ekifananyi ky'ekika era mbeebaza olw'omulimu ogulabika wano," Dr. Wamala bweyayogedde.
Okwogera bino yasinzidde ku mukolo abazzukkulu mu Kika ky'engo kwebalamagidde ku Butaka bw'ekika kyaabwe e Buteesasira mu ggombolola ye Kalamba mu ssaza ly'e Butambala ku Lwomukaaga.
Omukulu w'ekika ky'engo, Omutaka Muteesasira Keeya Namuyimba Ttendo yasinzidde wano n'asaba abazadde okukuuma obutebenkevu mu Maka okusobola Okukuza obulungi abaana ate abanawanirira emirimu gy'ekika egyenkya.

Omukulu w'ekika ky'engo ng'alaga Akatabo akaakubiddwa okulaga ebikoleddwa ekika mu Mwaka guno
Omumyuka wa Katikkiro w'ekika kino, Nelson Kaseneene Kalyango yalambuludde ku bikoleddwa mu Kika omwaka guno okuli Omutaka okulambula bazzukkulu, okwongera ku mulimu gw'okuzimba Enju y'Omutaka ku Butaka bwatyo neyeyama nga bwebagenda okutumbula obumu mu Kika okutandikira ku Lukiiko olukozi lw'emirimu okusobola okutwala ekika mu maaso.
Omuwanika w'ekika kino, Evans Ssinabulya yeebazizza Abazirango olw'okuwagira emirimu gy'ekika omwaka guno kyokka n'asaba nti emitemwa gyaabwe, bafube okugituukirizza nga bwegyalambikibwa.
Ye Omwami w'essaza ly'e Butambala, Hajj Sulaiman Magala yeebazizza ab'engo olw'okukola enkulakulana ku Butaka gyagambye nti egenda kwongera okutumbula ekitundu.

Minisita Wamala n'abekika ky'Engo
Abantu basatu bawereddwa amayinja agabeebaza olw'okukolerera ekika okuli Omuwanika w'ekika Evans Ssinabulya, Sam Kalyango ne James Kavuma.
Omutaka Muteesasira yawadde Olukiiko oluli ku mulimu gw'okuzimba Enju ku Butaka nsalasale okutuuka ku Mazaalibwa ga Yesu ng'emaliriziddwa okulongoosebwa kubanga olunaku olwo mwayagala okulukwatira.