Amawulire

Abavubuka ba NUP e Buwama bakyuse ne beegatta ku NRM

ABAVUBUKA ababade bawagira NUP e Bunjako ku mwalo gwe Bukiina e Buwama - Mpigi bakyuse ne bsoga ekibiina kya NRM ne bawera okuwenjera Pulezidenti Yoweri Museveni akalulu n’abantu bona abessimbideewo ku kaadi ya NRM

Ndase ng'ali wamu n'abavubika ba NUP abeegasse ku NRM
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

ABAVUBUKA ababade bawagira NUP e Bunjako ku mwalo gwe Bukiina e Buwama - Mpigi bakyuse ne bsoga ekibiina kya NRM ne bawera okuwenjera Pulezidenti Yoweri Museveni akalulu n’abantu bona abessimbideewo ku kaadi ya NRM
Bino byabadde mu nsisikano n’omukwaganya wa pulogulamu y’amaka ga Pulezidenti eya Youth Wealth Creation Faizal Ndase bweyabade asisinkanye abavubi n’abatuuze mu muluka gwe Bunjako okumanya okusoomozewa kwebalina mu kitundu.
 Mu lukungaana luno mwemwabade n’abavubuka be kibiina kya NUP abakulembeddwa Abbey Nsubuga ng’abano Ndase yabakuyeze ku Birungi ekibiina kya NRM bwekyakakola era okukakkana nga Nsubuga ne banne nga bakyuse ne besogga ekibiina kya NRM era ne basuubiza okuwenjeza aba NRM akalulu okutandikira ku Museveni.

Nsubuga yagambye nti ye abade talina kizibu kyona ne gavumenti ya NRM naye obuzibu bubade ku bakulembeze abamu mu kibiina kya NRM ababade tebabakiriza kufuna mu pulogulamu ezireteddwa Gavumenti naddala eya PDM.
 Yagambye nti bo nga abavubuka ababeera e Bukiina babade beekolamu ebibiina by’okwekulakulanya naye sente bwezajja tewali muvubuka n’omu yafuna ku sente ezo ne wankubade nga baali baatukiriza obukwakulizo bwona.

Ndase ng'ayambuza Nsubuga enkofiira ya NRM ne banne abalala abakyuse

Ndase ng'ayambuza Nsubuga enkofiira ya NRM ne banne abalala abakyuse

Sente zaafunibwa abo abantu ate abalina nga bavubuka abaali mu bwetaavu ne baviiramu awo.
Ndase yakuyeze abavubuka bano bano ne bakkiriza okweyunga ku NRM nga yabasubiiza nga bwagenda okwongera okukwatagana bano okulaba nga bafuna ebirungi okuva mu Gavumenyi ng’ayita mu mirimu egyo emitono gyebakola..
 Bwatyo yayaniriza Nsubuga ne banne bwebegasse ku NRM era n'agamba nti ekisanja ekijja Museveni kyagenda okufuga kyakwekulakulanya nakugaggawala naddala mu bavubuka era bagenda kufunamu nnyo nga bayita mu pulogulamu ya Youth Wealth Creation.
Wahab Kagiri Wasswa omu ku bategese omukolo guno yagambye nti yalaba ebizibu bingi ebiruma abantu e Bukiina-Bunjako nga babade tebamanyi pulogulamu za gavumenti era nga bawubisibwa abo abatawagira gavumenti ya NRM bwatyo beekolamu ebibiina byokwekulakulanya era bangi besoze NRM.
 Yebaziza Ndase eyakiriza okubakyalirako namusaba okwongera okuddukirira abavubuka bano nga bwabade akola mu bitundu ebirala nga kino kigenda kuyamba Museveni okuwangulira waggulu.
Sentebe we Bukiina Richard Muganga Magoba yasabye gavumenti okuyamba abavubuka be Bukiina okubafunira ebikozesebwa mu kuvuba balekera awo okwenyigira mu nvuba embi kubanga guno gwe mulimu gwebasinga okukola.
 Yebazizza Ndase olw’enjiri ya NRM gyeyawade abavubuka ba NUP nebasobola okukyuka era ekikolwa kino kigenda kwongera obuwagizi bwa NRM e Bunjako ne Buwama.