Amawulire

Ab'e Wakiso basabye Gavumenti etereeze ekizibu ky'amasannyalaze agavaako

 ABATUUZE mu disitulikiti ye Wakiso basabye Gavumenti etereze mu nsonga y'amasannyalaze kiyambe abantu abetandikiddewo pulojekiti ez'enjawulo okugaganyulwamu.

Haaj Kakande ng'annyonnyola
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

 ABATUUZE mu disitulikiti ye Wakiso basabye Gavumenti etereze mu nsonga y'amasannyalaze kiyambe abantu abetandikiddewo pulojekiti ez'enjawulo okugaganyulwamu.

Bano bagamba nti, Pulezidenti Museveni ng'ateekateeka okukyalako mu disitulikiti, ensonga y'okubunyisa amasannyalaze basaba agiteeke kumwanjo nnyo kuba Wakiso kyekimu ku bibuga ebikuze ebyetaaga amasannyalaze buli kiseera.
      Pius Kakooza omutuuze w'e Lukwanga mu ggombolola ya Wakiso Mumyuka yagambye nti yafuna ssente z'emyooga, era natandikawo bizinensi y'okwokya ebyuma kyokka olw'okuvaako kw'amasannyalaze kimukosaamu olumu.
Yagambye nti kizibu amasannyalaze gano okubaako okumala ennaku 2 eziddiringana, oluusi ekimuwa obuzibu okumaliriza emirimu gyaba afunye mubudde era nekimuvirako neba kasitoma abalala okugenda.

Ye Shakirah Nanvuma nga atunda byakunywa mu Wakiso, yagambye nti okuvaako kw'amasannyalaze baali bakugumidde era nga bagabaza lwe galiko nebakola ekyetagisa, kyokka nti emiwendo gyago miyitirivu.

"Abamu tuli bannamwandu, ffe tuwerera abaana baffe naye wesanga nga biil ezze naye nga nzito nnyo ate nga n'obuuma ya Yaka bwetukozesa oluusi bugaba yunitisi ntono nnyo ekintu ekitukosaamu." Nanvuma bweyayongeddeko.

Ekyalo Lukwanga ekirimu amasannyalaze agava vaako

Ekyalo Lukwanga ekirimu amasannyalaze agava vaako

Francis Kalule nga mutuuze we Ssempya mu ggombolola ye Namayumba, yagambye nti kyewunyisa okuba ng'ekitundu kyabwe kiri mu Wakiso naye ng'amasannyalaze tegatuuka ngayo.
  Yasabye Pulezidenti Museveni kino akiteeke kumwanjo nnyo, Wakiso agisukkulumye kuba yemu ku disitulikiti eziriranye Kampala ate ng'efulumya ebintu bingi.
      Hassan Sserugo nga mutuuze we Wakiso, yagambye nti basanyukidde nnyo enkulakulana, era amasannyalaze mukitundu kyabwe mwegali, nti kyokka Gavumenti esanye eyongere ku tulansifooma abantu bonna baganyulwemu.
      "Tulina tulansifooma ekwata omuliro buli kiseera ku kkubo eridda e Kavumba, naye buli bwetugamba bekikwatako tebalina kye bakola. Tulansifooma endala zetagibwa kuba amasannyalaze nebwegabaako gaba matono." Sserugo bweyayongeddeko.
      GAVUMENTI YAKUNOGERA EKIZIBU KINO EDDAGALA;
      Omuteesiteesi omukulu mu ofiisi ya Pulezidenti, Haaj Yunus Kakande yategezezza nti Rural Electrification Authority egezezaako okutambuza amasannyalaze wadde nga waliwo ebitundu ebitannafuna, kyokka nti balina essuubi nti gajja kutukayo.
      Kakande yagambye nti kino kiyambye abantu ab'enjawulo okubaako kye bakola ssaako okugula obuuma obwongera omutindo ku bye bakola era nti bino byonna bitukiddwako lwa kubunyisibwa kwa masannyalaze.
      Kyokka Kakande yagambye nti Gavumenti beyali yakwasa omulimu gw'amasannyalaze, tebaagukolanga bwegulina kuba, nesalawo egweddize era nagamba nti ekizibu ky'emiwendo emingi, okuvavaako ssaako n'okugabba bagenda kukinogera eddagala.
      "Tulina essuubi nti buli kimu tuli mukulingoosa, era kyenyiza okutegeeza abantu nti wetunaatukira mu March wa 2026, ekizibu ky'amasannyalaze okuvaako kigenda kuba kifuuse lufumo." Kakande bweyayongeddeko