OMUNTU omu afudde n'abalala basatu ne balumizibwa bya nsusso, mmotoka mwe babadde batambulira, bw'etomedde eggaali y'omukka e Wankoko.
Akabenje kano kabadde Wankoko ku luguudo oludda e Luzira mu munisipaali y'e Nakawa mu Kampala, mmotoka ekika kya Pajero nnamba UBF 582 X bw'etomedde eggaali y'omukka ebadde eva e Kampala okudda e Mukono.
Mmotoka eno, ebaddemu bannansi nga Bamerika okuli omwami Mathew Gardener ,omukyala Savannah Gardener , n'abaana babiri . Bano, bakozi mu kitongole kya Baptism Mission in Uganda.
Kigambibwa nti aggaali, egikubye n'egikasuka mmita nga 200 , ababaddemu ne batwalibwa mu ddwaaliro lya Rubis Hospital ku Lugogo by Pass kyokka Savannah Gardener n'afa nga yaakatuusibwayo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti akabenje , kaaliba nga kavudde ku butagoberera biragiro by'eggaali y’omukka ebyassibwawo.