Ssaabadinkoni w’e Nakibizzi , Rev. Canon. Robert Kiwanuka Mulinde atabukidde abakristaayo n’abantu abeeyita ab’eddiini kyokka nga bwe badda mu maka gaabwe beeyisa bulala n’agamba nti kino kyonoona obulamu bwabwe n’obwabo be bawangaala nabo

Kkwaaya eyakulembeddemu okusinza
Kiwanuka bino abyogeredde ku kkanisa y’omutukuvu Apollo Kivebulaya e Nakibizzi mu diviizoni y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe gy’akulembeddemu okusaba kwa maazalibwa ga Yesu Kristo.
Asinzidde eno n’ayambalira abakyala abasusse okufuuyira abami baabwe emmindi wamu n’okweraguza by’ategeezezza nti bino isiba emikisa gya baagalana bombi wamu n’abaana baabwe.

Abakristaayo abamu baatudde wabweru nga Kkanisa temala.
“Ndi mwennyamivu nyo naddala eri abakyala abafuuwa emmindi n’abeeraguza ssaako abantu bonna abakola ebikolwa ebyekko gamba nga obubbi, ettemu n’ebriala.”
Yategeezezza nti emize gino naddala ogw’okufuuwa emmindi gisiba emikisa mu maka era abazirina yabasabye bazimenye bwe badda awaka, bazisuule mu kaabuyonjo, olwo balyoke balabe obulungi bwa Katonda.

Rev. Can. Kiwanuka ng'abuulira.
Ono era asabye abantu okukuuma emirembe wamu n’okugondera amateeka naddala mu kisera kino eky’okunoonya obululu era oluvannyuma yakulembeddemu okusiibula omusumba w’obusumba buno Rev. Joel Ssembuusi eyakyusiddwa n’atwalibwa mu Busumba bw’e Kasoga mu Lugazi .
Bo abamu ku Bakristaayo baategeezezza nga Ssekukkulu y’omwaka guno bw’ebadde enzibu ennyo gye bali olw’ebbeeyi y’ebintu eyeekanamye.