Amawulire

Eyawandiika ebigambo bya Protest vote mu kkubo akwatiddwa

Omuvubuka agambibwa okwekobaana ne banne abalala ne bawandiika ebigambo 'Protest Vote' wakati mu luguudo, e Lwamata, akwatiddwa. 

Ebigambo ebyawandiikiddwa mu kkubo
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuvubuka agambibwa okwekobaana ne banne abalala ne bawandiika ebigambo 'Protest Vote' wakati mu luguudo, e Lwamata, akwatiddwa. 

Bino, byabaddewo ku Lwokutaano  ekiro, abantu abaabadde batambulira ku pikipiki  okutali nnamba, bwe bawandiise bigambo bino, mu luguudo wakati mu kabuga k'e Lwamata ku Kampala - Hoima rd.

Ebigambo ebyawandiikiddwa mu kkubo

Ebigambo ebyawandiikiddwa mu kkubo

Akwatiddwa, ye Arafat Kabulwa, omutuuze w'e Kiyinja mu Ggombolola y'e Kyekumbya e Lwamata mu disitulikiti y'e Kiboga. 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lemark Kigozi, agambye nti omuyiggo gw'abalala, gugenda mu maaso era nga waliwo n'ebintu ebirala bye bazudde okuva mu maka g'omukwate