Amawulire

Batongozza kkampeyini ya 'stage ku stage' okunoonyeza Pulezidenti Museveni Akalulu mu babbooda

Nga beetegekera okukyala kwa pulezidenti Yoweri Museveni, mu Kampala, ne Wakiso wakati mu kaweefube gw'alimu okuboonya obuwagizi mu kulonda okusuubirwa okubaawo nga January,  15, aba NRM bongedde ebinnonoggo mu  kampeyini zaabwe.

Batongozza kkampeyini ya 'stage ku stage' okunoonyeza Pulezidenti Museveni Akalulu mu babbooda
By: Stuart Yiga, Journalists @New Vision

Nga beetegekera okukyala kwa pulezidenti Yoweri Museveni, mu Kampala, ne Wakiso wakati mu kaweefube gw'alimu okuboonya obuwagizi mu kulonda okusuubirwa okubaawo nga January,  15, aba NRM bongedde ebinnonoggo mu  kampeyini zaabwe.

Ku Ssande, Maj. Emmanuel Kuteesa, ng'ali wamu ne Maj. Gen. Christopher Ddamulira ne Jane Barekye, baatongozza enkola y'okunoonya obuwagizi mu bavuzi ba bodaboda gye baatuumye 'Stage Ku Stage' NRM campaign Mobilization ku kisaawe ky’e Nabweru mu munisipaali y’e Nansana we baavudde okweyongerayo ku kisaawe ky’e Kajjansi, mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abamu ku babbooda abaabadde ku kisaawe e Nabweru

Abamu ku babbooda abaabadde ku kisaawe e Nabweru

Frank Mawejje, akulira abavuzi ba bodaboda mu Kampala, era ng'ayakulira ekibiina ekigatta ebibiina byonna eby'abali mu mulimu gwa bodaboda mu ggwanga, yalambululidde banne engeri Pulezidenti Museveni, gye yabayamba obutagobwa mu Kampala, ssente z'azze ateeka mu bibiina byabwe eby'obwegassi, saako ekiragiro kye yayisa ng'abakendeereza ku ssente z'okufuna pamiti ezibakkiriza okuvuga ppiki.

Yagaseeko nti, ng'ayita mu bitongole by'okwerinda, pulezidenti akoze butaweera okulaba nga ababadde bakuba aba bodaboda obuyondo bakwatibwa.

Wano we yasinzidde n'asaba buli muvuzi wa bodaboda waali , okuwagira pulezidenti Museveni, nti kuba y'amanyi ennaku yaabwe.

Wano nga bakwatiridde ku kkubo ly'e Nabweru bayisa ebivvulu.

Wano nga bakwatiridde ku kkubo ly'e Nabweru bayisa ebivvulu.

Okusinziira ku Maj. Kuteesa, enkola ya 'Stage Ku Stage' yasooka kutongozebwa mu diviizoni zonna ettaano ezikola Kampala, era emikolo egyayindira ku kisaawe ky'essomero lya Nakasero wamu ne Kawempe ku Growers, wiiki ewedde.

Wabula, newankubadde kiseera kya kunoonya bululu, Kuteesa yalabudde aba bodaboda okwewala okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Yabasabye bayambeko okukuuma emirembe nga bang'anga yenna anaagezaako okuleetawo akacankalano mu kulonda okujja.

Tags:
Amawulire
Pulezidenti Yoweri Museveni
Wakiso
Kampala