Amawulire

Ebyewuunyisa ku baffamire 7 abaafiiridde mu kabenje omulundi ogumu

IVAN Nuwagaba 38, yakoleezezza mmotoka ye ekika kya Toyota Filder ku ssaawa 7:30 ez’ekiro ku Lwomukaaga okuva mu maka ge e Kyengera ayolekera mu kyalo e Ibanda gye yabadde agenda okubatiriza abaana.

Ebyewuunyisa ku baffamire 7 abaafiiridde mu kabenje omulundi ogumu
By: Kizito Musoke Shammim Nabunnya ne Ali Wasswa, Journalists @New Vision

IVAN Nuwagaba 38, yakoleezezza mmotoka ye ekika kya Toyota Filder ku ssaawa 7:30 ez’ekiro ku Lwomukaaga okuva mu maka ge e Kyengera ayolekera mu kyalo e Ibanda gye yabadde agenda okubatiriza abaana.

 

Yasoose kukakasa nti bonna abagenda bakkalidde mu mmotoka. Mukyala we Brenda Inembabazi 34, yatudde mu maaso ng’asitudde omwana waabwe asembayo Kelon Agaba 2.

Abakungubazi Mu Kiyongobero

Abakungubazi Mu Kiyongobero

Mu mutto gw’emabega waabaddeyo muganda we Sayuni Turihonabwe 39, n’abaana be okuli; Keith Agaba 15, Keisha Atuhirwe 8, Kenen Masiko 5.

 

Omukozi w’awaka Jane Kirabo baamulagidde asigale ng’akuuma ewaka era akakase nga taggulira muntu yenna akonkona si kulwa ng’ayingiza ababbi.

 

Tebaategedde nti tebaabadde baakutuuka anti olugendo baaluvugidde essaawa 3:00 zokka ne bafuna akabenje akaabatuze bonna ku kyalo Njagalakasaayi ekisangibwa mu disitulikiti y’e Lwengo.

 

Omukozi mu maka ga Nuwagaba, Jane Kirabo yategeezezza nti abagenzi baasimbudde okuva ewaka ku ssaawa 7:30 ez’ekiro ne bamuleka ewaka akuumewo.

 

Kyokka ku makya ku Lwomukaaga, yafunye essimu ya mukama we, bwe yagikutte eyagikubye ne bamutegeeza nti yabadde wa poliisi n’amugamba nti nannyini ssimu afiiridde mu kabenje ne bonna ababadde mu mmotoka.

Turyamureba Taata Wa Nuwagaba Ali Ku Ndiri Yafuna Akabenje

Turyamureba Taata Wa Nuwagaba Ali Ku Ndiri Yafuna Akabenje

“Saasoose kubikakasa ne nkubira muganda wa Nuwagaba eyantegeezezza nti naye waliwo omuserikale amukubidde n’amutegeeza ekintu kye kimu” Kirabo bwe yategeezezza mu nnaku.

 

Omwogezi wa pollisi e Masaka, Twaha Kasirye yategeezezza nti akabenje kaavudde ku kuvigisa kimama kuba Nuwagaba eyabadde avuga Toyota Filder nnamba UBH 476W yavudde mu layini n’agezaako okuyisa n’atomeragana ne FUSO namba UBP510V eyabadde yeetisse ebijanjaalo ng’edda Kampala.

 

Abaabadde mu Toyota Filder bonna baafiiriddewo era mu ddwaliro e Masaka baatutte mirambo ate emmotoka ezaakoze akabenje ne zitwalibwa ku poliisi y’e Lwengo.

Ainembabazi Ne Bba Ivan Nuwagaba Abaafudde N'abaana Baabwe

Ainembabazi Ne Bba Ivan Nuwagaba Abaafudde N'abaana Baabwe

Kasirye yawabudde abantu okuvuga n’obwegendereza n’okwewala obutamala gayisiza we basanze kuba abakozesa oluguudo bangi. Akabenje kaaguddewo ku Lwomukaaga nga bukya ku ssaawa 10:30 ku kyalo Njagalakasaayi ekisangibwa mu town council e Kanoni mu disitulikiti ye Lwengo.

 

Ffamire eyaweddewo batuuze b’e Kyengera-Kazinga okumpi ne Temple mu disitulikiti y’e Wakiso. Nuwagaba abadde atunda ggaasi okuliraana essundiro ly’amafuta erya Total e Kyengera ku Mukaaga. Inembabazi naye abadde atunda ggaasi okuliraana essundiro ly’amafuta erya Meru e Kyengera.

 

Nuwagaba abadde mutuuze w’e Kanyanya-Kyebando nga yabadde azze wa muganda we bagende bonna mu kyalo ku mukolo gw’okubatiza abaana.


 EKIRI MU KYALO GYE BAGENDA OKUZIIKIBWA OLWALEERO
Gyabadde miranga n’okwaziirana ku kyalo Kyogo ekisangibwa mu ggombolola y’e Kamwezi mu disitulikiti y’e Rukiga emirambo gy’abooluganda abaafiiridde mu kabenje bwe gy’abadde gituusibwa ku butaka.

Abakungubazi Mu Kiyongobero

Abakungubazi Mu Kiyongobero

Emirambo gyatwaliddwa mu maka ga taata wa Nuwagaba, Benon Swaibu (yasiramuka luvannyuma) amaze emyaka mukaaga ng’ali ku ndiri oluvannyuma lw’okufuna akabenje n’amenyeka omugongo.

Yagambye nti batabani be Nuwagaba ne Turihonabwe baakulira wamu era babadde baamukwano. Kyokka maama wa Nuwagaba yali yamuzaalamu omu mu maka bwe yali tannanoba.

“Nuwagaba abadde mukono gwaffe gwa ddyo ng’atulabirira mu buli kimu awatali kutujuza engeri gye nagongobala. Abazzukulu abaafudde naddala omulenzi omukulu mbadde njogera nnyo naye ku ssimu ng’ayagala nnyo okusamba akapiira ng’aliko abazannyi be Bulaaya be yeegomba” Mzee Swaibu bwe yategeezezza.

Emirambo gyonna baasoose kwagala kugiteeka mu nnyumba, kyokka nga tegigyamu ne basalawo okugikuumira wabweru. Baakuziikibwa ku kyalo Kyogo leero ku kiggya kimu.

Tags:
Amawulire
Ffamire
Toyota Filder
Ibanda
Kyengera
Kwolekera
Kyalo