Nga tumalako omwaka omukadde n'okuyingira omupya, poliisi erabudde abantu okwewala ebikolwa ebyefujjo nga bajaganya.
Mu bimu ku bigaaniddwa, mwe muli okwokya ebipiira naddala nga bali mu nguudo, abalina emmundu obutakuba masasi mu bbanga n'ebirala.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti bali bulindaala okukwata n'okuvunaana abo bonna, abaneenyigira mu fujjo.
Asabye abo bonna abategeka ebivvulu n'okusaba mu kiro ekyo, okubeera obulindaala n'okukolagana n'ebitongole ebikuumaddembe nga bewala ebikolwa ebyekitujju, ebiyinza okubaawo.