Amawulire

Nandala bamusabidde omukisa gw'okuwangula akalulu ka 2026

Owa FDC agikiikiridde mu kalulu k’obwapulezidenti 2026 bamutaddeko emikono ne bamuwa omukisa gw’obuwanguzi ng’akalulu ka 2026 koongeddwamu ebbugumu.

Nandala bamusabidde omukisa gw'okuwangula akalulu ka 2026
By: Alfred Ochwo, Journalists @New Vision

Owa FDC agikiikiridde mu kalulu k’obwapulezidenti 2026 bamutaddeko emikono ne bamuwa omukisa gw’obuwanguzi ng’akalulu ka 2026 koongeddwamu ebbugumu.

Amuriat (mu gaalubindi) wakati mu mmisa ne Nandala eggulo.

Amuriat (mu gaalubindi) wakati mu mmisa ne Nandala eggulo.

Nandala Mafabi omukisa gwamuweereddwa ku Eklezia ya Our Lady of Lourdes mu disitulikiti y’e Abim era Faaza Fredrick Wanjala wakati mu mmisa eyayimbiddwa eggulo ku Ssande.

Fr. Wanjala yategeezezza nti ebyobufuzi si mizannyo buzannyo ng’abantu bwe bakinogaanya wabula abantu be babifuula ebibi.

Fr. Wanjala ng'awa Nandala Mafabi omukisa.

Fr. Wanjala ng'awa Nandala Mafabi omukisa.

Yagambye nti ekkanisa ya bantu bonna era n’amusabira okulaba omukisa agende afune by'ayaayaanira mu kalulu k’obwapulezidenti akajja mu 2026.

Nandala, mmisa yagibaddemu n’akulira ekibiina kya FDC, Patrick Oboi Amuriat, abamu ku beng’anda ze ssaako n’abawagizi ba FDC abazze okugyetabamu. Nandala yasabye abantu mu Abim okumwesiga n’obululu bwabwe asobole okuzza engulu ebyenfuna by’eggwanga.

Tags:
FDC
Mafabi
Kalulu
Nandala