Gen Mugisha EN.Mugisha Muntu agumizza Bannayuganda ku nkulaakulana y'ebibuga ng'afuuse Pulezidenti w'eggwanga.
Muntu bw'abadde asaggula akalulu mu kibuga ky'e Lira abaayo bamulaajanidde ku mbeera y'obutale, enguudo embi, amazzi n'ekizibu ky'amasannyalaze agavaavaako.
Eno Muntu mu kwogerako eri abantu mu kibuga ky'e Lira, yabagumizza nti gavumenti ye yaakussa essira ku nkulaakulana y'ebibuga okulabanga biweebwa ssente ezeegasa mu mbalirira y'eggwanga okusobola okuteekebwateekebwa obulungi.
Muntu agambye nti bingi ku bibuga bya Uganda tebituukana na mutindo olwa ssente ezibiweebwa okukola emirimo n'ategeeza nti bw'akwata obuyinza byonna bijja kutereezebwa.
E Lira Muntu ategeezezza nti ebibuga biteekwa okubeera n'amasannyalaze agabeerako obudde bwonna okusobozesa abasuubuzi okukola emirimo gyabwe awatali kutaataaganyizibwa.
Bo abakyala abakola mu butale, balajanidde Muntu ku mbeera embi gye bakoleramu olw'obutale obutali buzimbe ko ne bBa Money Lender ababawola Ssente ku magoba aga waggulu ennyo nga bagamba bye bibasibye mu bwavu n'abagumya okubakolako.
Muntu era agambye nti ebibuga birina okuteekebwateekebwa obulungi okulaba nga omugotteko mu bibuga gukendeera abantu basobole okubyeyagaliramu.
E Lira Muntu asabye abantu okumwesiga bamuwe akalulu akole ku bizibu byabwe.