POLIISI eggudde emisango ku nnannyini mmotoka eyakwatiddwa akatambi ne kasaasaanyizibwa nga abaana abato bali mu kuvuga mmotoka ky’egambye nti kimenya mateeka.
Omwogezi w’ekitongole kya poiisi ekivunaanyizibwa ku bidduk,a Michael Kananura yagambye nti waliwo nnannyini mmotoka ekyakoze ekikolwa eky’obulagajjavu bwe yawadde abaana abato mmotoka okuvuga ng’ate kino kimenya mateeka era poliisi yagguddewo omusango.
Kananura yategeezezza nti akatambi akaasaasaanyiziddwa ku mikutu gino abaana baalabiddwa nga bavuga mmotoka namba UAT 817 J nga baabadde ku biici emu e Ntebe nga nnannyini mmotoka yayolesezza obulagajjavu kuba abaana mmotoka esobola okubalemerera n’ekola akabenje.
Yategezezza nti poliisi mmotoka yagiyingizza mu byuma byayo ebiketta ku nguudo nga bw’enaalabibwako yaakukwatibwa, olwo nnannyini waayo atwalibwe mu kkooti avunaanibwe.