ABAKKIRIZA baakungaanye mu bungi ku lutikko e Namirembe okweetaba mu kusaba okumalako omwaka mu kiro ekyatuumiddwa Namirembe Diocese Cross Overnight.
Ababuulizi ab'enjiri baakulembeddwamu omulabirizi w'obulabirizi bw'e Namirembe Rt. Rev Moses Banja, Can. Prof Olivia Nassaka Banja, Rev Moses Naimanhye omulabirizi w’e Busoga eyaakawumula, Rev Stephen Lumu Lwasi akulira ekitongole ekibuulizi ky’enjiri e Namirembe, Rev Abraham Nkata Kato, Rev. Moses Ssenyonyi n'abalala.

Abantu nha bali mu kusaba ku lutikko e Namirembe
Omulabirizi Moses Naimanhye yeeyabadde omuburizi w’olunaku, Engiri yatambulidde ku mulamwa ogugamba nti ‘Golokoka Yaka’.
Yakubirizza abantu beerabire ebizibu byebalina nebyo bye bayiseemu omwaka 2025 naye basitule amaaso gabwe bagatunuulize katonda kubanga asobolera ddala okukyuusa byonna ebibabaddeko singa babeera nga bakuumye okukkiriza kwaabwe.
Mu kubulira enjiri abantu banji basazeewo okwaatula obulokozi ne beetwalira Yesu ng'omwagalwa waabwe.

Okusaba e Namirembe
Ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro abakkiriza ku lutikko e Namirembe bakolerezezza emisubbaawa ng'akabonero k'okwaniriza omwaka 2026 ogw'okwakaayakana era ogujjudde ekitangaala.
Omulabizi Moses Banja ng'ayambibwaako abaweereza ba katonda abalala baayingizza abakkiriza omwaka wakati mu kukuba zi aleluuya ez’omwanguka n’okukuba ettendo.
Banja yasabidde abantu bonna abaakunganidde mu kifo kino omukisa gw'okubayisa mu mwaka 2026 nga bawanguzi.

Abantu nga balki mu kusaba e Namirembe
Bano era baasabidde emirembe mu ggwanga lyonna omwaka guno 2026 omuli n'okulonda kwa bonna.