AKAKIIKO akaakwasibwa omulimu ogw’okulondoola enteekateeka za Gavumenti mu ofiisi ya Pulezidenti, katandise okusisinkana ebiwayi by’abantu ab’enjawulo abazze basuubizibwa Pulezidenti okuweebwa ssente z’enkulaakulana.
Bano nga bakulembeddwaamu Yiga Kisa Kyamukama, baasoose kusisinkana bamakanika ba mmotoka, obugaali ne piki piki abasangibwa mu munisipaali y’e Mukono n’e Ntebe saako ab’e Nansana ne Wakiso ng’era okutalaaga kuno kukyagenda mu maaso.
E Mukono, bamakanika baabadde basoba mu 300 nga bano yabakakasizza nti, Pulezidenti Museveni ssente obukadde 300 ze yasuubiza okubawa gye buvuddeko weeziri kyokka beetaaga okutereeza SACCO yaabwe nga bagiwandiisa ng’amateeka bwe galagira era kino bateekeddwa okukikola mu bwangu.
Yannyonnyodde nti, enteekateeka ey’okuwa abantu ssente z’okwekulaakulanya ngazi wadde banaabeera baweereddwa obukadde buno 300, waliwo enteekateeka endala ey’okwongera mu SACCO zaabwe akawumbi ka ssente nga kino yasuubiza nti, kya kukolebwa mu July.
Abakyala abakakkalabiza emirimu gyabwe mu bifo bino ebya galagi ng’abafumba emmere, caayi n’emirimu emirala emitonotono nabo baakuweebwa ssente era SACCO yaabwe yaakuteekwamu obukadde 100.
Kyokka bamakanika n’abakyala abaabadde bannamukisa, olukung’aana we lwaggweredde, baweereddwa ssente ezaakagwirawo ezaabadde wakati w’emitwalo 20, emitwalo 50, akakadde n’obukadde 2 bongere mu bizinesi zaabwe.
Kisa Kyamukama yasoomoozezza abantu okukomya eby’okuvumirira Gavumenti n’okulowooleza mu kwetaba mu bikolwa eby’okwekalakaasa wabula buli omu abeeko ettoffaali lyayongera mu bulamu bwe ku ludda lw’enkulaakulana