Amawulire

Museveni ayuuguumizza Nansana ne Kawempe

PULEZIDENTI Museveni akubye enkung'aana gaggadde e Kawempe mu Kampala ne Nansana mu Wakiso n'asuubiza nti ng'awangudde akalulu, agenda kugogola emivuyo egiri mu ssente za PDM buli muntu aziganyulwemu.

Pulezidenti Yoweri Museveni ng’atuuka e Nansana mu kisaawe kya Kawanda Research Centre.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni akubye enkung'aana gaggadde e Kawempe mu Kampala ne Nansana mu Wakiso n'asuubiza nti ng'awangudde akalulu, agenda kugogola emivuyo egiri mu ssente za PDM buli muntu aziganyulwemu.
Museveni yagambye nti enkung'aana za kampeyini zimuyambye okuzuula engeri gy'agenda okuziba emiwaatwa n’asuubiza okwongera ku ssente zino.
E Kawempe olukung'aana yalukubye Kawempe Mbogo gye yawadde abantu 5 omukisa okumubuulira ebibaluma ku ssente za PDM okuli, Rogers Mutumba eyamutegezezza nti yeewandiisa nga mmemba wa SACCO ya Makerere II, wabula baamusaba enguzi ya 200,000/- z’ataalina ne bamumma ssente!
Siraje Sserwanga: Nva mu muluka gw'e Buwambo mu Kawempe. Okufuna ssente za PDM osooka kuteekamu 250,000/-, ze tutalina.
Shamira Nakyazze: Ffe abeera enguudo aba Seven Hills, abantu batuvuma nti lwaki tukuwagira nga batusasula 200,000/- omwezi.
Wano Museveni yasabye akulira KCCA, Sharifah Buzeki annyonnyole abeera enguudo bafuna ssente mmeka n’amutegeeza nti 6,000/- olunaku.
Goeffrey Lubega: Ndudde nga nkuwagira era nnina mijoozi gyo gyokka wabula gye buvuddeko ababbi babba edduuka lyange e Kireka. nanoonya bwe nfuna ku ssente za PDM kyokka bannemesa. Ekirala, ewaffe e Busiika eriyo omugagga agoba abantu ku ttaka kumpi omutwalo mulamba!
MUSEVENI ABAANUKUDDE
Mu kubaanukula, Pulezidenti abagumizza nti ssente weeziri wabula ezimu bazibba. Yagambye nti yakizudde nti ensobi ziva mu ngeri obukiiko bw’emiruka gye bulondebwa ne bukozesa bubi obuyinza n’alagira minisita wa Gavumenti ez'ebitundu Raphael Magyezi n'omwana w'omulwanyi Galabuzi akulira PDM balongoose ensobi eno.
Yakoowodde abantu bonna abaaweebwa ssente za PDM ez’ebitundu n’abaasooka okuggyibwako ssente okuzifuna, balonkome abaababba basibwe.
Ebiwandiiko biraga nti Kampala yonna yaakafuna ssente za PDM obuwumbi 19, ekitegeza nti Bannakampala amaka 1,9000 bafunye ssente zino.
YASOOSE KAWANDA
Museveni eggulo olukung’aana lwe olusooka yalukubye ku kisaawe kya Kawanda Research Centre mu Nansana gye yavudde okugenda e Kawempe, Matugga. Ab’e Nansana yabasuubizza okubakolera enguudo n'okubawa ambyulensi.
Abantu baamusabye okubatuusaako amazzi amayonjo e Busukuma, Busiro North ne South nga bwe kiri e Nansana ne Kira
Yategeezezza Banna -Wakiso ne Kawempe nti bwe baali balwana mu kitundu kino mu myaka gya 1980-1986, ebitundu nga Matugga, Kawanda, Nansana, Wakiso n'emiriraano baalina oluguudo lumu olukole olwa Kawempe-Matugga -Bombo nga n’abantu basula mu nnyumba za ssubi naye kati abantu bagaggawadde, basula bulungi.
MULUNDE EMBIZZI
Yabawadde amagezi okulunda enkoko oba embizzi, okulima obutiko, okulunda ebyennyanja n’ebirala ebireeta ssente era n’asuubiza okubasimira ebidiba.
Florence Kiweewesi akulira abakyala abakola ebyemikono e Najeera yawadde obujulizi nti ebyuma ebisala amabaati n'okunyiga Pulezidenti bye yabawa bibagaggawazza.
Yagambye nti okumanya Uganda ekulaakulanira ku misinde, mu 1986 yalina ente obukadde busatu naye kati ziweze 16.
N’agamba nti abantu bongedde okulima kasooli, amatooke n’ebirala. Yagambye nti buli muntu aweza emyaka 18, waddembe okufuna ssente za PDM. Museveni yagambye nti disitulikiti y'e Wakiso baakafuna obuwumbi 50, eza PDM n’asaba Minisita Raphael Magyezi akole ku bantu abaafisse buli omu afune ku ssente zino ezitakaawa nga za bammanelenda.
ASUUBIZZA OKWONGERA KU SSENTE ZA PDM
“Tugenda kwongera ku ssente eziweebwa abeemiruka okuva ku bukadde 100 okutuuka ku 300 era ndi musanyufu nti abantu abatono abaakafuna ku ssente zino balina kye beekoledde.
Muka Pulezidenti era minisita w'ebyenjigiriza yasinzidde Kawanda n’asiima abantu b'e Nansana n’e Kawempe olw’okulaga NRM omukwano bwe bazze mu bungi okulaga obuwagizi.
Yasabye ab'e Nansana okulonda buli akwatidde NRM bendera ku mitendera egy'enjawulo, olwo enkulaakulana etuuke ku buli muntu.
Omumyuka wa ssentebe wa NRM asooka Al- Hajji Moses Kigongo yeebazizza ab'e Wakiso okwegatta ne banoonyeza Museveni akalulu.
Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among, yasabye Museveni awe abavubuka b'e Nansana, Wakiso ne Kawempe ssente bazeewoe beetandikirewo emirimu kubanga eza PDM tebaazifuna.