Akulira ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) era akikwatidde bendera ku kalulu k’obwapulezidenti akalindirira okukubwa wiiki ejja, general Mugisha Muntu, asoomoozezza gavumenti ya NRM okukola embalirira y’ensimbi etamala mu bibuga ne mu byalo, ne kivaako empeereza embi mu byalo.

Abamu ku bawagizi ba Muntu nga bamuwuliriza.
Muntu bino abyogeredde ku lukung’aana lw’akubye ku kyalo Nyakagongo ward, Central diviizoni mu kibuga Fort Portal olwaleero ku Lwokutaano. Yabasabye bamulonde akyuse eggwanga naddala mu by’embalirira n’ebyensimbi.