Amawulire

Abantu babiri battiddwa mu ngeri etannategeerekeka emirambo gyabwe ne gisuulibwa e Bukwanga e Kamuli.

Abantu babiri battiddwa mu ngeri etannategeerekeka, emirambo gyabwe, ne gisuulibwa e Bukwanga e Kamuli. 

Abantu babiri battiddwa mu ngeri etannategeerekeka emirambo gyabwe ne gisuulibwa e Bukwanga e Kamuli.
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu babiri battiddwa mu ngeri etannategeerekeka emirambo gyabwe ne gisuulibwa e Bukwanga e Kamuli. 

Emirambo gyombi ogw'omusajja n'omuwala, gizuuliddwa abatuuze ku kyalo Bukwanga Bumbya zooni mu muluka gw'e Kasozi mu Ggombolola y'e Namasagali mu disitulikiti y'e Kamuli. 

Omu ategeerekese nga muvuzi wa boda boda Salim Mawerere 38 omutuuze w'e Bugobi ate omulala nga Sylvia Babirye 22 omusuubuzi owa Bulungi zooni. 

Kitegeezeddwa nti Babirye, abadde yakadda okuva e Kampala ng'agenze okulya ennaku enkulu okusinziira ku nnyina. 

Ayongeddeko nti waliwo eyamukubidde essimu n'ava awaka nga Dec 31  nti okuva olwo, teyazzeemu kulabika, bazudde mulambo. 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samason Lubega, asabye abantu abayinza okubaako amawulire gebamanyi ku kukufa kw'abantu, bano, okubuulira poliisi mu kyama, ng'okunoonyereza kukolebwa.