Omukazi agambibwa okukakkana ku muwagizi w'ekibiina kya NRM n'amukuba n'okumuyuliza omujoozi akwatiddwa poliisi e Katwe.
Bibadde mu zooni ya Kavule e Katwe mu munisipaali y'e Makindye mu Kampala.
Poliisi ekutte Gladys Rebecca Nakanwagi 57 nga bamulumiriza okukuba Mariam Namutebi 65 n'amulumya n'okumuyuliza engoye
Namutebi kigambibwa nti abadde ayambadde omujoozi ogwakyenvu okuli okifaananyi kya President Museveni era nga mu video, gulabika nga guyuziddwa ku bulago.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti Nakanwagi bamukutte ne bamuggalira ku poliisi e Katwe era n'akubiriza abantu okwewala okutwalira amateeka mu ngalo.
Abasaba okubeera abakakkamu naddala mu nnaku zino ezibulayo okutuuka mu kulonda.