Amawulire

Okukwata bendera y'eggwanga kuwereddwa ku lunaku lw'okulonda

SSENTEBE w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama alabudde abalonzi obutakwata bendera ya ggwanga oba okwambala engoye ezikoleddwa mu bendera y’eggwanga ku lunaku lw’okulonda, kubanga kimenya mateeka.

Okukwata bendera y'eggwanga kuwereddwa ku lunaku lw'okulonda
By: Lawrence Kizito, Journalists @New Vision

SSENTEBE w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama alabudde abalonzi obutakwata bendera ya ggwanga oba okwambala engoye ezikoleddwa mu bendera y’eggwanga ku lunaku lw’okulonda, kubanga kimenya mateeka.

 

Byabakama okwogera bino abadde mu nsisinkano n’abagenda okulondoola akalulu okuva ebweru w’eggwanga ne munda mu Uganda, ebadde ku woteeri ya Mestil e Nsambya mu Kampala olwaleero.

 

Omu ku beetabye mu nsisinkano eno, abuuzizza Byabakama oba waliwo omusango gwonna gw’aba azzizza singa ayambala olugoye olukoleddwa mu bendera ya Uganda ku lunaku lw’okulonda.

 

Mu kumwanukula, Byabakama amusomedde akawayiiro 47 (2) ak’etteeka erirungamya akalulu k’obwapulezidenti, akagamba nti ku lunaku lw’okulonda, tewali mulonzi akkirizibwa kwambala lugoye, kukwata bendera, oba ebipande ebirina akakwate ku muntu eyeesimbyewo.

 

Wadde etteeka terinnyonnyola bendera ya kika ki eyogerwako, Byabakama agambye nti mu kkampeyini zino kitegeerekese nti aba NUP babadde bakozesa bendera ya Uganda, ekitegeeza nti bagirinako akakwate, era anaajambala oba okugikwata ajja kuba yeetadde mu mbeera ey’okumulaba ng’ali mu bya kampeyini, ekitakkirizibwa mu mateeka.

 

Akalulu ka bonna kagenda kubaayo ku Lwokuna lwa wiiki eno nga January 15,2025, Bannayuganda we bagenda okusalirawo Pulezidenti anaakulembera eggwanga emyaka etaano egiddako, n’ababaka ba Palamenti.

Tags:
Amawulire
Kukwata
Bendera
Kuwera