Poliisi ye Nsangi yakutte eyali omukozi wa Uganda Funeral Service Henry Migadde ku bigambibwa nti yabba emmotoka za kkampuni eyo bweyali akyakolerayo.
Migadde nga kati yaddukanya kkampuni ekola ku by'okuziika eya Prestige yaggyiddwa mu wofiisi ye esangibwa e kabuusu nga wano era weewasangiddwa nemmotoka eyogerwako eyekika kya Toyota Hiace.
Wabula emmotoka eno yasangiddwa nga yakyusibwa Langi okuva ku nzirugavu gyeyaliko nga kati baagisiiga ya kataketake. Nga oggyeeko okugikyusa Langi emmotoka eno yasangiddwa nga ne nnamba plate yaayo yakyusibwa okuva ku UBL 084T nga kati baabadde baateekako nnamba UBH 331Y.

Emmotoka nga bweyali efaanana nga tenakyusibwakyusibwa
Emmotoka eno bwebaayongedde okugyetegereza baakizudde nga ne chasis nnamba yaayo baagezaako okugisimuulako okwongera okubuzaabuza obuvo n'obuddo bwayo. Wano poliisi nga ekolagana nebambega baayo ababadde banoonya emmotoka eno baagitadde ku kasiringi netwalibwa ku poliisi ye nsangi nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
peter mugongo omu ku baddukanya Uganda funeral services yategezezza nti emmotoka zaabwe bbiri zaabula ku ntandikwa yomwaka oguwedde bwezaali zigenze okukola emirimu. Oluvannyuma kyazuulwa nti om uku baali baddukanya kkampuni eyo yeyali aziwambye oluvannyuma lwobutakaanya obwabalukawo wakati wabaddukanya kkampuni eyo.
Mugongo ayongerako nti baasobola okusuula enkessi nebazuula emmotoka emu ku ggwanika lyeddwaliro lyemengo bweyali egenze okukimayo omulambo. Nga bayambibwako poliisi baayongera okunoonya emmotoka eyokubiri okutuusa webaafunye amawulire nti om uku baali abakozi baabwe Henry Migadde gyabadde akozesa mu kkampuni ekola omulimu gwegumu gyeyali yatondawo amangu ddala nga baakayawukana. Wano baatemezza ku poliisi yensangi eyasazeeko wofiisi ya Migadde emmotoka neboyebwa.
Joseph Nsubuga akulira uganda funeral service agamba nti emmotoka eno yalimu ebyuma ebiyamba mu kuziika okuli ebiteeka emirambo mu ntaana nebirala era nga okubbibwa kwayo kubafiiriza ssente empitirivu olwemirimu okuba nga gibadde tegitambula bulungi.

Emmotoka nga bwefaana nga bagikyusizza
Bano era baagala Migadde abawe nnamba plate eyaliko nebimu ku byuma ebyalimu nga etwalibwa. Nsubuga atulaze ezimu iku mpapula kwebaagulira emmotoka eno ne logbook yaayo eraga chasis nnamba efaanaganira ddala neyo eyasangiddwa ku mmotoka eno.
Migadde yateereddwa ku kakalu ka poliisi kyokka nga waakusigala nga yeyanjula eri poliisi nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.