OKULONDA e Lubaga kwatandise mu budde, zaagenze okuwera ssaawa emu ey’okumakya ng’abavubuka n’abaliko obulemu nga batandise okutuuka okulonda abakulembeze baabwe.
Wadde okulonda kubadde kwa kimpowooze, naye eby’okwerinda bibadde ggululu nga poliisi n‘amagye byebulunguludde ekifo okulaba nti tewali ffujjo lyonna likolebwa mu kalulu kano, era obwedda abajja beebasuula akalulu abamu nebagenda newasigalawo abatonotono.

Okulonda kw'abavubuka e Lubaga nga kugenda mu maaso
Kugenze okuggwa nga Josephine Nanteza owa NRM awangudde obwa kansala w’abavubuka abawala e Lubaga n’obululu 489, addiriddwa Victorious Naggayi atalina kibiina n’obululu 388, Patience Katusiime atalina kibiina akutte kyakusatu n’obululu 202 ate Fiona Nankya owa NUP naakwata kyakuna n’obululu 38.
Ye kansala w’abavubuka abalenzi Abdul Ziad Busuulwa, nga ye mutabani weeyali ssentebe wa NRM e Lubaga omugenzi Ziad Ssebuliba, yaayitawo nga tavuganyiziddwa.
Mu kalulu k’abaliko obulemu, Lilian Walugembe owa NRM ayiseewo n’obululu 27 okukiikirira abalema abakyala ku gombolola e Lubaga , awangudde; Rebecca Kigozi atalina kibiina afunye obululu 18 ne Halima Bajuwe atalina kibiina obululu 19 , ate Ali Kibirango Mukasa atalina kibiina naayitawo okukiikirira abaliko obulemu abaami ku ggombolola e Lubaga n’obululu 34 , awangudde; Majidu Kawooya owa NRM afunye obululu 30 ne Katende Luttamaguzi atalina kibina nga ye tafunyeeyo kalulu.

Josephine Nanteza
Ku ky’abakadde; Eva Nalunga NRM ne Ahmed Kyewalabye naye NRM, baayitawo nga tebavuganyiziddwa.
Abawagizi abamu tebamatidde na bivudde mu kulonda nga bagamba nti, mwetobeseemu emivuyo egiremesezza omuntu waabwe Victorious Naggayi akutte eky’okubiri obuwanguzi.
Ye ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula alaze essanyu olw’obuwanguzi bwebatuuseeko nga NRM e Lubaga mu kulonda kuno, n’ategeeza nti akalulu kabadde ka mazima kubanga buli eyeesimbyewo abadde ne ba agent be abalondoola buli ekibadde ekikolebwa, ate abayiseewo bonna ba NRM okuleka omu atalina kibiina kyokka nga naye waabwe aba NRM.
Wabula Majembre alabudde abawagizi ba NRM abatuuse ku lunaku lw'okulonda ate ne balonda abantu abatalina kibiina. Majembere agambye nti bano bagenda kubanonyerezaako era bakangavvulwe.