OBULULU n’ebintu ebigenda okukozesebwa mu kulonda ba meeya ne bakkansala ba munisipaali ez’enjawulo enkya mu Wakiso bwatusiddwa ku ofiisi z’ebyokulonda e Wakiso wakati mu bukumi obw’amaanyi.
Bino byakwasiddwa akulira eby’okulonda e Wakiso, Tolbert Musinguzi era nga buli bbokisi eyabadde ejjibwa ku mmotoka ng’esooka kukoppebwako koodi oluvannyuma netwalibwa mu sitoowa.

Musinguzi yategeezezza nti bamaze okweteekateeka okulaba nga balondesa abakulembezze ba munisipaali okuli ba mmeeya ssaako nebakkansala baabwe era nakubiriza abantu okufaayo okulonda kumitendera gyonna mumirembe.
“E Wakiso tulina okulonda mu munisipaali okuli Nansana, Makindye Ssabagabo, Kira ne Ntebe era nkubiriza abantu ng abwe babadde balonda mu kulonda okwasooka ne kuno bakujjumbire kuba abantu bebalonda beebo abagenda okubatusaako empereza mu bitundu byabwe.” Musinguzi bweyayongeddeko.

Musinguzi akulira eby’okulonda mu Wakiso
Musinguzi era yalabudde ku besimbyewo abagufudde omuze okwerangirira nga bayita kumitimbagano ssaako okugenda kukifo ewalangirirrwa nebatandika okujaguza kye yagambye nti kumulundi guno anaakikola agenda kuvunanibwa mumateeka.
Yannyonnyodde nti naabo ababa tebamatidde nabilangiriddwa kakiiko ka byakulonda, balina kuddukira mu kkooti sso sikutekawo mbeera ya bunkenke na ffujjo omuli n’okukunga bannabwe okwekalalasaa.