Amawulire

Emisango gy’okulonda gyonna gyakuyita ew’akulira abalamuzi

EMISANGO gyonna egyekuusa ku byokulonda gyakusooka kuyita ew’akulira abalamuzi nga tezinnawulirwa.

Emisango gy’okulonda gyonna gyakuyita ew’akulira abalamuzi
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

EMISANGO gyonna egyekuusa ku byokulonda gyakusooka kuyita ew’akulira abalamuzi nga tezinnawulirwa.

 

Omuwandiisi omukulu ow’essiga eddamuzi, Pamela Lamunu Ochaya yagambye nti kino kyasalibwawo ng’okulonda tekunnabaawo.

Abodo bw'afaanana.

Abodo bw'afaanana.

Lamunu yagambye nti enkola eno si mpya era baagisalawo nga basinziira ku nsonga ez’enjawulo. Yabadde ayogera ku nteekateeka y’olukuhhaana lw’abalamuzi mu Afrika ebeerawo buli mwaka. 

 

Yagambye nti, abalamuzi ba kkooti ensukkulumu si baakwetaba mu lukung'aana kubanga balina okuwulira omusango gw’ebyokulonda ogwawaabwa Robert Kasibante ng’awakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni.

 

Yayongeddeko nti fayiro zonna zaakuyita ew’akulira abalamuzi, Jane Francis Abodo kubanga baazuula nti kkooti ezimu zirina emisango mingi ate awalala tewali.

 

 N’agamba nti, Abodo bw’amala okutunula mu fayiro zino, ng’asalawo omulamuzi anaaguwoza, emisango gireme kwetuuma mu kkooti emu ng’ate awalala tewali misango giwozesebwa.

 

Kino kyakoleddwa okusobola okukola ku misango gino mu budde. Okuyisa fayiro zino ew’akulira abalamuzi, Lamunu yagambye nti kiyambako okuteekateeka obulungi kyokka tekiremesa bantu kutwala misango gyabwe mu Kkooti Enkulu ez’omu bitundu gye babeera.

Tags:
Misango
Balamuzi
Kulonda
Kukulira