Amawulire

Ssenyonyi atadde Gavumenti ku nninga ku bya Kyagulanyi

MINISITA ow'ebyamawulire Dr. Chris Baryomunsi yategeezezza Palamenti nga abeebyokwerinda abali mu maka ga Kyagulanyi bwe baliwo okutangira abantu abakyamu okumala gasaatuukirayo, olw'embeera y’ebyokwerinda.

Ssenyonyi atadde Gavumenti ku nninga ku bya Kyagulanyi
By: Aminah Shakirah Nalugo, Journalists @New Vision

MINISITA ow'ebyamawulire Dr. Chris Baryomunsi yategeezezza Palamenti nga abeebyokwerinda abali mu maka ga Kyagulanyi bwe baliwo okutangira abantu abakyamu okumala gasaatuukirayo, olw'embeera y’ebyokwerinda.

 

Kyaddiridde akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi okuteeka Gavumenti ku nninga ennyonnyole lwaki abeebyokwerinda bagumbye ewa Kyagulanyi okuva ku lunaku lw’okulonda ne bagaana n’abooluganda lwe okugendayo okulambula ku bantu baabwe.

Kyagulanyi Ssentamu lwe yanoonya akalulu

Kyagulanyi Ssentamu lwe yanoonya akalulu

Ssenyonyi era yalumirizza Gavumenti okuwamba abakulembeze baabwe n’abasaba bannyonnyole amayitire g’abakulembeze ba NUP okuli; Jolly Tukamushaba, Dr. Lina Zedriga, Edward Ssebuufu n’abalala. 

 

Amyuka sipiika, Thomas Tayebwa yasabye minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda, Gen. David Muhoozi ne minisita w’ebyamawulire Dr. Chris Baryomunsi bannyonnyole ku nsonga zino.

 

Baryomunsi yayongedde okukikkaatiriza nga Gavumenti bw’eterina kye yeetaaza Kyagulanyi nti era wa ddembe okudda mu maka ge wabula n’ategeeza nti abakuumaddembe abatonotono abalabibwako nga balawuna amaka ga Kyagulanyi, bayambako okutangira bannakigwanyizi abayinza okufuula amaka gano akatuuti kwe bakumira omuliro mu Bannayuganda, ekiyinza okutabangula emirembe.

 

Baryomunsi yagambye nti buvunaanyizibwa bwa Gavumenti okutangira obutabanguko mu ggwanga. Minisita David Muhoozi yasambazze ebyayogeddwa Ssenyonyi nti Gavumenti ewamba abantu baabwe, n’ategeeza nti baabakwata bukwasi era balina ensonga lwaki baakwatibwa.

 

Ssenyonyi era yasabye Gavumenti ennyonnyole ku mivuyo egyetobese mu kulonda omwabadde okukuba abantu ttiyaggaasi, okuyiwa amagye we balondera, engeri abantu gye baayisibwamu mu kampeyini, omwali okubatulugunya n’abamu okuttibwa, ssaako okubba obululu.

 

Kyokka Baryomunsi yamutegeezezza nti buli alina okwemulugunya ku kulonda okwawedde, wa ddembe okugenda mu kkooti.

Tags:
Kyagulanyi
Gavmenti
Ssenyonyi
Nninga