Rev. Fr. Emmanuel Mukasa, ng’ono y’abadde omumyuka wa Ssenkulu wa Seminario ento ey’e Nyenga, eyafiiridde mu ddwaliro ly’e Nyenga ku Monday nga February 2, wakuziikibwa ku Lwokusatu nga February 4, mu limbo y’Abasaserdooti b’essaza ekkulu ery’e Kampala, eri ku Seminario ento ey’e Kisubi.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Viika Genero w’e Lugazi, Msgr. Richard Kayondo, mmisa ey’okusiibula omugenzi y;akutandika ku ssaawa 5 ez’okumakya.

Fd 8
Fr. Emmanuel Mukasa asibuka Jjanya, mu disitulikiti y’e Mpigi. Obusaserdooti bwamuweebwa Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala. Ngayaakafuna Obusaserdooti, Fr. Mukasa yasindikibwa mu kigo ky’e Kiziba, gyeyamala omwaka gumu gwokka ng’akola ng’omubeezi wa Bwanamukulu (omugezi Msgr. Expedio Magembe), ate oluvannyuma n’aweerezebwa mu Seminario ento e Nyenga okungunjula Abaseminario. Eno amazeeyo emyaka 27, ng’asomesa Abaseminario Olulatini, Olungereza, Ebyayita (History), Geogaphia, n’empisa ez’omubantu.
Fr. Mukasa alina bannyina Ababiikira babiri, okuli Sr. Mary Tarsis Nammombwe, ne Sr. Mary Teddy Nakyanzi, bombi nga baakibiina ky’Omutima gwa Biikira Maria Omuddaabiriza, ekimanyiddwa ennyo nga eky’Abasista b’e Gogonya.
Kinajjukirwa nti emyaka 3 emabega, nga September 17, 2022, Fr. Mukasa y’ajaguza emyaka 25 mu Busaserdooti. Omukolo mawuuno gw’ali mu Seminario e Nyenga. Kumukolo guno, Paapa y’asiima obuweereza bwa Fr. Mukasa, era n’amuweereza Omukisa gwe ogw’Obutume.

Omugenzi Faaza Emmanuel Mukasa ng'ayolesa omukisa gw'obutume Paapa Francis gweyamuweereza bweyali ajaguza emyaka 25 mu Busaserdooti nga 17.sept.2022
Dr, Muyingo Amukungubagidde
Okufa kwa Faaza Emmanuel Mukasa kuleetedde abantu bangi okwennyamira. Minista omubeezi avunaanyizibwa kuby’enjigiriza eby’awaggulu, Dr. John Chrysostom Muyingo nga naye y’asomerako mu Seminari e Nyenga y’asiimye Faaza Mukasa gweyagambye nti y’omu kubasomesa abalungi, abakoze ekinene okusitula omutindo gw’eby’enjigiriza mu Seminario eno.
“Abadde Musaserdooti ow’eky’okulabirako, ayigirizza obulungi Evanjiri, mu bigambo nemubikolwa. Ate ggwe wamma agunjudde bangi mu magezi n’empisa. Twebaza Katonda olw’obulamu bwe, ate n’olw’ebyo by’asbodde okumukozesa. Tusaba Katonda omwoyo gwe aguwummuze mirembe,” Dr. Muyingo bweyategeezezza