Omukwanaganya omukulu owa Pulezidenti ku nsonga za Buganda, Joseph Sewava akungubagidde Ssaabalangira wa Buganda, Godfrey Musanje eyavudde mu bulamu bw'ensi ku makya g'Olwokubiri.
Sewava eggulo yagenzeeko ku kigango eky'abakulu b'emituba e Namirembe mu ggombolola y'e Lubaga gye yasisinkanidde abakungubazi era n'abasaasira nnyo.
Yategeezeza nti Gen. Museveni abadde mukwano nnyo w'omugenzi era ye yamusimbira n'omutuba nga ayingizibwa mu kika eky'Ente .

Ssewava ng'ayogera
" Tusaaliddwa nnyo Ssabalangira okutugendako nga Pulezidenti Museveni yaakawangula akalulu. Abadde muntu mulamu nnyo"
Mu mbeera eno yagambye nti amawulire waakugazzaayo eri pulezidenti Museveni amunnyonnyole n'enteekateeka z'okuziika nga bwe zinaabeera .
Bw'atyo yayongedde n'asaasira Obwakabaka bwa Buganda olw'eky'ekango kino ekyaguddewo.