Amawulire

Sewava akungubagidde Ssaabalangira wa Buganda

Omukwanaganya omukulu owa Pulezidenti ku nsonga za Buganda, Joseph Sewava akungubagidde Ssaabalangira wa Buganda,  Godfrey Musanje eyavudde mu bulamu bw'ensi ku makya g'Olwokubiri.

Sewava akungubagidde Ssaabalangira wa Buganda
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Omukwanaganya omukulu owa Pulezidenti ku nsonga za Buganda, Joseph Sewava akungubagidde Ssaabalangira wa Buganda,  Godfrey Musanje eyavudde mu bulamu bw'ensi ku makya g'Olwokubiri.

Sewava eggulo yagenzeeko ku kigango eky'abakulu b'emituba e Namirembe mu ggombolola y'e Lubaga gye yasisinkanidde abakungubazi era n'abasaasira nnyo.

Yategeezeza nti Gen. Museveni abadde mukwano nnyo w'omugenzi era ye yamusimbira n'omutuba nga ayingizibwa mu kika eky'Ente .

Ssewava ng'ayogera

Ssewava ng'ayogera

" Tusaaliddwa nnyo Ssabalangira okutugendako nga Pulezidenti Museveni yaakawangula akalulu. Abadde muntu mulamu nnyo" 

Mu mbeera eno yagambye nti amawulire waakugazzaayo eri pulezidenti Museveni amunnyonnyole n'enteekateeka z'okuziika nga bwe zinaabeera .

Bw'atyo yayongedde n'asaasira Obwakabaka bwa Buganda olw'eky'ekango kino ekyaguddewo.

Tags:
Sewava
Ssabalangira