Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akaagudde e Luweero n'abalala 13 ne baweebwa ebitanda nga bafunye ebisago. Akabenje kabadde Kasana ku luguudo oluva e Luweero okudda e Butalangu.

Ttakisi mwe baabadde mwe yabadde.
Kaabaddemu mmotoka ekika kya kamunye nnamba U A76 CH ebadde eva e Ngoma okudda e Luweero bw'etomereganye ne loole Tata UBJ 081 B ng'eva Kiwoko okudda e Butalangu.
Abafudde kuliko Joy Kusigwire 22, ow'e Kyabiguuru, Nathan Nuwenyine ow'e Kyabiguuru nga bano bombi babadde mu ttakisi ne Martine Kigongo 43 ng'ono abadde mu loole.

EKimotoka ekyaweddewo.
Abalumiziddwa kuliko abasajja 9 , abakyala babiri n'abaana abawala babiri. Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam twiineamazima agambye nti emirambo gitwaliddwa mu ggwanika e Nakaseke ate abalumiziddwa bali mu ddwaaliro e Kiwoko. Agasseeko nti baddereeva b'emmotoka bombi tebannategeerekeka bibakwatako.