Poliisi e Nabweru eriko abantu basatu b'ekutte n'obululu obugambibwa okuba obugolole.
Bino bibadde mu kifo awalonderwa ekya Zimbena polling centre mu kiseera ky'okulonda.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti ebizibiti babifunye era okubuuliriza, kugenda mu maaso.