Amawulire

Bp. Kazimba atandise okusiibula Abakristaayo nga yeetegekera okuwummula

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu atandise okusiibula Abakristaayo mu Bulabirizi obw’enjawulo nga yeetegekera okuwummula ku Bwassaabalabirizi bw’amazeeko emyaka 7.

Bp. Kazimba atandise okusiibula Abakristaayo nga yeetegekera okuwummula
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu atandise okusiibula Abakristaayo mu Bulabirizi obw’enjawulo nga yeetegekera okuwummula ku Bwassaabalabirizi bw’amazeeko emyaka 7.

Kazimba yatuuzibwa ku Bwassaabalabirizi mu Lutikko e Namirembe nga March 8, 2020 oluvannyuma lw’okulondebwa mu lukiiko lw’Abalabirizi olwatuula ku nkomerero ya 2019 mu Namirembe Guest House.

Omulabirizi Gaddie Ng’annyonnyola Kazimba (wakati) Bwe Yabadde E Kabale.

Omulabirizi Gaddie Ng’annyonnyola Kazimba (wakati) Bwe Yabadde E Kabale.

Nga tannafuuka Ssaabalabirizi, yali Mulabirizi wa Mityana gye yaleka omukululo ogw’amaanyi mu nkulaakulana y’ekitundu, okugaziya pulojekiti z’ekkanisa n’okubuulira enjiri mu Bakristaayo.

Kazimba yatandikidde mu Bulabirizi bwa Kigezi obutwala disitulikiti ssatu okuli; Kabale, Rukiga ne Rubanda. Eno yayaniriziddwa Omulabirizi wa Kigezi, Rt. Rev. Gaddie Akanjuna ssaako Abalabirizi abaawummula George Bagamuhunda ne William Rukirande.

Yamazeeyo ennaku nnya n’asiima pulojekiti ezikoleddwa mu Bulabirizi bwa Kigezi. Kazimba yagguddewo ekifo ekikung’aaniramu Ababuulizi b’enjiri n’abalyoyi b’emyoyo e Rugarama mu munisipaali ya Kabale.

Yakubirizza Abakristaayo okufaayo okusembeza Katonda mu mitima gyabwe n’okubeera abajulirwa ba Mukama nga bakola ebyo ebikolwa byokka ebimuweesa ekitiibwa.

Okusinziira ku nteekateeka ya Ssaabalabirizi Kazimba, agenda kulambula Obulabirizi bwonna 39 obukola ekkanisa ya Uganda era agenda kusiibula Abakristaayo ng’ayita mu kusaba okw’enjawulo okutuusa nga March 2027, lw’agenda okuwaayo entebe.

Tags:
Kkanisa Kazimba
Amawulire
Dr. Stephen Kazimba Mugalu

Emboozi Ezifanagana