Amawulire

Emyaka 14 nga mutabani wa Gaddafi yeekweka okumutta

Emyaka 14 nga mutabani wa Gaddafi yeekweka okumutta

Emyaka 14 nga mutabani wa Gaddafi yeekweka okumutta
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MUTABANI wa Gaddafi eyattiddwa, amaze emyaka 14 ng’alina akabinja akakambwe akamuyigga okumutta okumwesasulizaako olw’ebikolobero kitaawe bye yakola bannansi abamu.
Saif al-Islam Gaddafi eyattiddwa ku Lwokubiri, ku myaka 53 gye yafiiriddeko, amazeeko 14 ng’ali mu kattu olw’okutya ababadde bamunoonya, ekitegeeza nti emyaka 39 gye yamala ku nsi nga kitaawe akyaliko, gye gyokka gye yafuniramu emirembe.

Engeri Gaddafi gye yattibwa mu bukambwe mu 2011.

Engeri Gaddafi gye yattibwa mu bukambwe mu 2011.


Kitaawe, Col. Muammar el Gaddafi yattibwa mu 2011 olwo mutabani we oyo gwe yali
alese ng’amuteeseteese okumusikira, n’atandika okubbinkana ne b’azze ayita ‘abayaaye’ mu bamu ku bantu ekyewuunyisa nga baali mu Gavumenti ya kitaawe.
Akabinja k’abantu kano ak’omutawaana akalimu abantu abagambibwa nti Gaddafi yabakola ebibi naddala abo abaali mu kibuga Benghazi, baasooka ne balwana okutta mutabani we ne balemwa.
Bwe byagaana ne basalawo bakolagane n’abamu ku baali mu Gavumenti ya kitaawe  ekyabanguyirizza omulimu.
Ekikyabobbya abantu emitwe mu kibuga Tripoli ekya Libya, y’engeri ebimu ku bikonge Gaddafi bye yali akolera ebirungi mu Gavumenti nga byegazaanyiza ne mu ssente z’amafuta g’eggwanga eryo ate gye byekyusirizza mutabani we n’attibwa.
Kigambibwa nti abaakolagananga ne Gaddafi, Gavumenti eriko ye yabatadde mu kattu nga balaba ng’omutabani agenda asemberera entebe.
Olw’okuba Gaddafi yali muganzi, baakirabye ng’abantu bayinza okumuyiira bululu mu kulonda okujja, kwe kwekobaana aveewo.
Akabinja ke kamu era ke kaamulemesa okwesimbawo bwe yali aleese amaanyi mu kalulu ka 2021 n’aggyibwa mu lwokaano nga bagambanti engeri gye yalina emisango, tekijja kulabika bulungi ssinga atuula mu ntebe.
Waliwo n’amawanga g’Abazungu agabadde gamulaba obubi. Jjukira nti amagye g’omukago gw’Abazungu ogwa NATO ge gaalumba Gaddafi okumugdya mu buyinza.
Nga Gaddafi attiddwa, Saif yasalinkiriza mpola mu ddungu n’atuuka mu ggwanga lya Niger gye yasooka okwekukuma. Eryo lye limu ku mawanga agaawa kitaawe abajaasi abamu ku baalwanyisa ennyo abeekalakaasi abaali mu kibuga Benghazi awaava olutalo olwamuviirako okuttibwa.

Saif al-Islam Gaddafi lwe yakwatibwa abayeekera mu 2011.

Saif al-Islam Gaddafi lwe yakwatibwa abayeekera mu 2011.


Saif al-Islam Gaddafi bwe yazzibwa ku butaka, yaggulwako emisango omwali egy’okutuntuza, okutta n’okubonyaabonya bannansi ba Libya mu budde nga kitaawe y’ali mu buyinza.
Abaali bawakanya kitaawe nga y’abakolako naye okusinga nga babuzibwawo oba okuttibwa oba byombi. Mu kkooti naye baamusalira gwa kufa mu 2015. Teyattibwa
n’ayiiyiriza amagezi nga bwe yeekwata ku bannabyabufuzi abamu abataalya lukwe mu kitaawe okutuusa lwe yayimbulwa mu 2017. Mu kuyimbulwa, kkooti yakozesa etteeka lya ‘amnesty law’ erisobola okwejjeereza abatemu ssinga bakkiriza ebikolobero n’obukwakkulizo obulala obugenderako. Bwe yayimbulwa, ate kyanyiiza bangi ne batabuka era Saif yakimanya n’ayongera kwekweka. Yaweebwa obukuumi mu katawuni ka Zintan gy’aludde okutuusa lwe byagaanyi, be yayita abayaaye ne
bamulyawo ng’enjogera bw’eri.

LWAKI BAAMUSSE
Eky’okumuyigga okumutemula, lyabadde nga kkatala nti, omuntu (Gaddafi) eyaziikibwa ne mu ddungu n’entaana ye n’eseeteezebwa obutaddamu kulabwako muntu, ate mutabani we ajja atya okudda mu bigere bye atwale obukulembeze bwe mu maaso?
Mu babadde bamuyigga mwabaddemu n’abaamawanga g’Abazungu. Abazungu baali banenya Gaddafi olw’okubalemesa enteekateeka zaabwe omwali n’obutayagala magye g’amawanga gaabwe ku lukalu lwa Afrika, obutayagala Afrika ekozese ssente zaabwe  ate ng’akolerera nnyo okwegatta kwa Afrika.
ENGERI ABALI MU GAVUMENTI GYE BAAMUWADDEYO  Abamu ku bali mu Gavumenti era be baali mu ya Gaddafi. Abo be bamu
era ababadde basinga kumanya engeri Saif gy’akuumwamu, bwe yeekweka ne by’akola. Awo abeebuuza engeri gye yafuddemu, we bakigattira nti, olukwe olwamumalirizza
lwavudde mu Gavumenti