Amawulire

Enfa y’omudigize ennyogozza Bannakampala

ENFA y’omudigize Diana Namulinde 24, amanyiddwa nga Diana Skyz ennyogozza ekisaawe ky’abadigize mu Kampala n’emiriraano.

Namulinde bw’abadde afaanana.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ENFA y’omudigize Diana Namulinde 24, amanyiddwa nga Diana Skyz ennyogozza ekisaawe ky’abadigize mu Kampala n’emiriraano.
Namulinde abadde amanyiddwa ennyo mu kusaasaanya obubaka ku mitimbagano ku mikutu egy’enjawulo okuli TikTok, Twitter, Facebook ne Instagram, yasangiddwa ng’afiiridde ku nnyumba z’abapangisa ez’omulembe ezimanyiddwa nga ‘Apartments’ e Kyanja mu zooni ya Kwata mu Divizoni y’e Kawempe mu Kampala.
Okusinziira ku baliraanwa ba Namulinde, omulambo gwe gwazuuliddwa ku Lwokusatu ku makya nga gwasangiddwaako enkwagulo mu bulago ekiraga nti waabaddewo akanyoolagano nga tannattibwa.
Namulinde mu nnyumba abadde asulamu yekka nga kigambibwa nti omutemu olwamaze okumutta, aliko ebintu eby’omugaso bye yakuuliise nabyo. Kigambibwa nti Namulinde era abadde yeeyambisa omutimbagano okukola obusuubuzi ng’ono abadde akozesa erinnya lya ‘Rich Wife’. Ababadde bagoberera Namulinde bagamba nti ku mikutu gye egya Tiktok ebiri abadde n’abagoberezi abali wakati w’emitwalo 16 ne 17 ate emitwalo 7 ku Instagram.
YASEMBAYO OKULABWAKO KU LWOKUBIRI
Maneja King owa Kurax Bar & Restaurant e Kyanja, Namulinde w’abadde atera okugula ebyokulya n’okuwummulirako, yategeezezza nti omugenzi yasemba okumulabako wiiki bbiri eziyise ng’ateekateeka okugenda ku lugendo ebweru w’eggwanga era ng’abadde kasitoma waabwe wa lulango.
Kyokka omu ku mikwano gy’omugenzi ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti omugenzi yasemba okulabwako mu bbaala ya Kurax ku Lwokubiri ekiro ng’alaba omupiira wakati wa Arsenal ne Chealse nga bw’anyumirwa n’omuziki gwa bbandi kyokka kyabakanze okuwulirwa nti afudde.
Kigambibwa nti omutemu olwamaze okutta Namulinde, oluggi yalulese luggule era mikwano gye abaakubye ku ssimu ye nga tagikwata beesitudde ne bagendayo, be baazudde nti atemuddwa.
Bano baatemezza ku poliisi eyazze ne yeekebejja omulambo n’eguggyawo okugutwala mu ggwanika e Mulago.
Ponsiano Wambare eyasangiddwa ku nnyumba Namulinde kw’abadde asula ku Lwokuna ku makya yategeezezza nti mukulu we, Joel Wambare, abadde avunaanyizibwa ku ky’okulabirira ennyumba zino yamukubidde essimu ku Lwokusatu ng’amuyita okumuyambako kyokka kyamubuuseeko bwe yasanze ng’ekifo kyebulunguddwa abaserikale.
Wambare yagambye nti eby’okufa kwa Namulinde yabyekangidde awo era nga mukulu we, y’omu ku baagendedde ku kabangali eyatutte omulambo e Mulango kyokka okuva lwe yasimbudde tannaddamu kumuwuliza.
ABADDE N’ABAMUTIISATIISA
Kigambibwa nti Namulinde abadde alina abamutiisatiisa n’okumwewerera okumutuusaako obulabe ng’eyasongeddwaamu olunwe ye mukazi agambibwa okumala ekiseera ng’amulabula.
Abalala bagamba nti ettemu lino lyekuusa ku ssente ate abalala balumirizza omukuumi abadde akuuma ekifo kino gwe bagamba nti yasangiddwa n’essimu y’omugenzi.
POLIISI BY’EZUDDE
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yagambye nti okunoonyereza kwe bakoze bakizudde ng’abazigu baayingiridde Namulinde mu kiro ky’Olwokubiri ne bamutuga oluvannyuma ne babaako ebintu bye batwala.
Yategeezezza nti baakutte omukuumi abadde akuuma ekifo kino oluvannyuma lw’okumusanga n’ebimu ku bintu by’omugenzi.
Oweyesigyire yagambye nti waliwo ebintu ebyaggyiddwa mu nnyumba ebyatwaliddwa ng’obujulizi mu kunoonyereza kwa poliisi.
We bwazibidde nga poliisi yaakakwata abantu basatu ku ttemu lino. Olumbe lwakumiddwa mu maka ga bakadde be e Nansana omulambo gye gwatwaliddwa oluvannyuma lw’okwekebejjebwa