Amawulire

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga mutaka  mu Ssaza lye Buvuma

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga mutaka  mu Ssaza lye Buvuma

Katikkiro Mayiga ng'alamusa ku bantu e Buvuma
By: Agnes Kyotalengerire, Journalists @New Vision

KAMALABYONNA wa Buganda Charles Peter Mayiga leero asiibye mu Ssaza Buvuma gy'agenze okukubiriza abaayo okulima Emmwanyi basitule omutindo gw'embeera zaabwe nga bayita mu kulwanyisa obwavu.

Atambulidde ku kidyeri MV Palm ekigobwa Captain Sanyu Davis era ng'ayaniriziddwa Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza Buvuma, Mbuubi Micheal Mboowa, abamyuka be, n'Abaami ba Kabaka ku mitendera egy'enjawulo.

Katikkiro Mayiga ng'ava ku kidyeri

Katikkiro Mayiga ng'ava ku kidyeri

E Buvuma Kamalabyonna agenda kulambula abavubi ku mwalo e Kasaali ne Mw. Godfrey Zebbu abe ggombolola Nayirambi, oluvannyuma alambule Omulongo Wasswa Slive asangibwa mu ggombolola Busamuzi.

Nga oggyeko okukubiriza abantu okulima Emmwanyi, Kamalabyonna wa kwongera okunnyikiza obukulu bw'okulwanyisa akawuka ka mukenenya akafumbekedde e nnyo mu bantu abawangaalira ku bizinga.

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga woowulirira bino Mugenyi mu Ssaza lya Ssaabasajja Kabaka Buvuma, gyagenda okusisinkanira Abalimi b'Emwaanyi wamu n'Abavubi okulaba webatuuse mu ntekateeka y'Okuzza Buganda ku ntikko.

Mu nkola eyatuumwa Mwaanyi Terimba era nga eno etambudde Kati eyingidde emyaka munaana, Obwakabaka bwa Buganda bwasalawo essira libuzze ku kulambula ebikoleddwa wansi w'Entekateeka eno, omuli okugatta Omutindo ku Mwaanyi n'Ebirime ,kiyambeko abantu ba Kabaka okusitula Ebyenfuna.

Katikkiro Mayiga ngabuuza ku bantu be Buvuma

Katikkiro Mayiga ngabuuza ku bantu be Buvuma

Katikkiro mu ntekateeka yeemu wakusisinkana Abavubi ku myaalo egyenjawulo, abeeko Obubaka bw'abawa obubazzaamu essuubi n'Okubawa amagezi ku ngeri y'Okusigala nga balamu bulungi, nga balwaanyisa okusasaana kwa Mukenenya kattira.

Minister w'Ebyobulimi,Obulunzi n'Obwegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo agambye nti okusitula ebyenfuna by'Abantu ba Kabaka kulina okusukka ku kulima kwokka, wabula Obulimi n'Obusuubuzi nabyo birowozebweeko.

Abakungu okuva mu Uganda AIDs Commission nga bakulembeddwaamu Commissioner Dr Steven Watiti n'Omukungu Merry Namuyomba omukwanaganya w'Emirimu mu Uganda AIDs Commission, basabye abalina akawuka ka Mukenenya bonna obutaggwaamu ssuubi, era ne bawa amagezi abalina ettaka nga balina Mukenenya ,okukolerako ebivaamu ensimbi, ate beetegekere ebiseera byaabwe ebyomumaaso.

Omwaami wa Kabaka amulamulirako essaza Buvuma Mbuubi Michael Mboowa yebazizza katikkiro ne ba minister ba Ssaabasajja okukwaatira awamu okukyuusa embeera z'Abanru ba akabaka ez'ebyenfuna wamu n'Ebyobulamu.