Ekijaguzo eky’emyaka 50 egya Seminario ya St. Mbaaga’s Major Seminary Ggaba kituuse. Kyakubeerawo nga 21, omwezi guno. Ng’ogumu kumikolo egy’okweteekerateekera ekijaguzo kino, abakulira Seminario eno, ngabali wamu n’olukiiko oluteesiteesi, baategese omusomo gw’abonna, mwebaayise okumanyisa abantu ebyafaayo byayo, neppulaani empya z’erina ez’okugyiyamba okutwala mu maaso ebigendererwa by’omutandisi waayo, omugenzi Emmanuel Kalidinaali Nsubuga.

Ebikujjuko
Omusomo gwaweereddwa eyali omumyuka wa Cansala wa Universiy y’e Nkozi (Uganda Martyrs University) era ng’ayakulirako ne Seminario eno, Rev. Prof. John Chrysostom Maviiri Ndidde, ey’atenderezza Kalidinaali Nsubuga olw’okwolesebwa jweyafuna n’atandika Seminario eno gyeyagambye nti kati y’akafulumya Abasaserdooti abasukka mu 400, ngabakolera mu masaza ag’enhawulo mu Uganda, Kenya, Rwanda, South-Sudan, America ne Bulaaya.
Y’asabye Abakristu n’abantu bonna ab’omwoyo omulungi okuwagira nnyo Seminario eno, okusingira ddala ngabasasulira abaseminario omutemwa gwabwe ogwa ffiizi, ate n’okwetaba mumirimo gyayo, naddala pulojekiti ez’okwekulaakulanya. Y’ategeezezza nti obuyambi obwaavanga ebweru bugenda bweyongera kukeewa, era nga Klezia ow’omu Uganda ne Africa takyalina kirala kyakukola, okujjako okufuba okulaba ngayeeyimirizaawo. Y’asabye n’abo abaasomerako mu seminario eno, okusingira ddala abataafuuka Basaserdooti naye nga kati bakoa emirimo emirungi, okuwagira emirimo gyawo mungeri ey’enjawulo.

Ebikujjuko
Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere y’ategeezezza nti abakulu eb’e Roma baabasaba baggulewo enzigi za Seminario eno eri Abakristu Obukristu, abaagala okusoma amasomo agasomesebwa mu Seminario enkulu, wadde nga tebalina kigendererwa kyajufuuka Basaserdooti,
Y’ategeezezza nti baakugoberera entereeza eyabaweereddwa, n’agamba nti enkola eno ejja kuyamba Abasaserdooti okutegeera obulungi abantu n’ebitone byabwe, era ejja kutumbula enkolagana yabwe n’Abkristu Obukristu, mumulimo gwabwe ogw’obutume.
Omukolo gwetabiddwako n’omubaka wa Paapa, Ssabasumba Dr. Augustine Kasujja, Ssenkulu wa Seminario eno Fr. Dr. Joseph Sserunjogi, n’abantu abalala bangi ng;abasinga baasomerako mu Seminario eno.
Ebitonotono ku St. Mbaaga’s Major Seminary
Yatandikibwawo omugenzi Emmanuel Kalidinaali Nsubuga nga February 16, 1976, oluvannyuma lw’okukizuula nti abavubuka bangi baalinga bafuna ekirowoozo eky’okufuuka Abasaserdooti ngabamaze okukula, era nga tebayise mu seminario nto.
Kubavubuka 16 abaasooka okuyingira Seminario eno, 9 baafuuna Obusaerdooti, nga kubo kwekwaali ne Ssabasumba Paulo Ssemogerere, n’Omwepiskoopi w’e Lugazi, Christopher Kakooza.

Ebikujjuko
Mukiseera kino Seminario eno erimu abaseminario abasukka mu 300, ngabava mu Uganda, n’amawanga amalala nga Kenya ne South Sudan.
Ebizimbe omwateekebwa Seminario eno okusooka mwalimu St. Mary’s Major Seminary, eyali ey’abaminsane ba Mill Hill Fathers. Ab’episkoopi ba Uganda bwebaasalawo okutamdika seminario enkulu ez’eggwanga lyonna, mumyaka gy’ensanvu, ekifo kyafuulibwa Ggaba Pastoral Institute, nayo oluvannyuma eyajjululwa mu 1974 n’etwalibwa mu Eldoret e Kenya, olw’embeera y’eby’obufuzi embi eyaliwo mubisera ebyo.
Olwo ebizimbe bino by’asigala nga tebirina kyebikolerwamu, Kalidinaali Nsubuga kwekuslawo abifuule Seminario y’essaza enkulu, n’agyituuma St. Mbaaga’s Major Seminary