Amawulire

Abakulu b’Ebika bavuddeyo ku baana abawanduka mu masomero

ABATAKA abakulu b'Obusolya bafungizza ku kulwanyisa n’okukendeeza omuwendogw'abaana ba Buganda abawanduka mu masomero ensangi zino.

w’ekika ky’Enkerebwe Banga Micheal Ssemugabi (ku kkono), Rashid Kimera (wakati) ne Nasserenga Nkunnyingi mu kugabira abaana sikaala e Mmengo. Kozesa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABATAKA abakulu b'Obusolya bafungizza ku kulwanyisa n’okukendeeza omuwendo
gw'abaana ba Buganda abawanduka mu masomero ensangi zino.
Obubaka bwabwe buno bwasomeddwa ssentebe w'ekitongole kyabwe ekiyambako abaana ba Buganda okusoma ekya ‘Busolya Education Fund,’
Omulangira Kimera Rashid. Baabadde ku mukolo kwe baakwasirizza abazadde sikaala
ezisoba mu 500 nga gwabadde ku ofiisi zaabwe e Mmengo ne bawera nti baakukola kyonna ekisoboka, abaana ba Buganda basobole okusoma. Abataka baagambye nti, abaana bangi wano mu bitundu bya Buganda babadde bawanduka mu masomero olw'ensonga ezitali zimu omuli n'okubulwa ebisale by'essomero.
Ne bagamba nti, eno y’ensonga lwaki baasazeewo okusitukiramu ne batuukirira amasomero okulaba nga bagakwasizaako abaana ba Buganda basome. Wabula baakuutidde abazadde abaaweereddwa sikaala okukola kyonna ekisoboka okukuumira abaana bano mu
masomero kuba gwe musingi gw’eggwanga ery’enkya. Katikkiro w'ekika ky'Enkerebwe, Banga Micheal Ssemugabi yasiimye abataka olw'enteekateeka eno gye yagambye nti yaakuyamba nnyo okukuumira abaana ba Buganda mu masomero, Buganda ey’enkya esobole okuba entangaavu