ALLAN Byamukama, 34, omu ku bannamukisa owa 15 mu nsi yonna abaakasooka okufuna obujjanjabi obuwonya siikoseero obwakafuluma obuyitibwa ‘gene therapy’, wabula abulojja olw’ebyo bye bwamuyisaamu. Anyumya bw’ati:
Obujjanjabi buno nabutandika emyaka ebiri egiyise mu 2023, wadde nga bwali bukyali ku mutendera gwa kunoonyerezebwako, naye nga bangi ababuliko babuganyuddwaamu.
Olw’okuba siikoseero abadde yangoya nnyo, abasawo bange baateesa ne banteeka ku bujjanjabi buno era ne batandika okunneekenneenya n’okunteekateeka.
Banzigyamu liita 8-9 ez’obutoffaali obuyitibwa ‘stemcells’, ne bazikenenya ne bazirongoosa ne baggyamu obutoffaali bwa siikoseero.
Obutoffaali buno bwe baggyamu bwaweza liita munaana, bagenda okumaliriza okuggyamu obutoffaali bwa siikoseero bwonna waasigalawo butono nnyo bwe banzizaamu.
Omulimu guno gwakolebwa abasawo basatu bokka era nga gwatwala eddakiika nga 30 ku 45, bwe bamaliriza ne banzizaamu obutoffaali obulongooseemu omutali siikoseero.
Nga mmaze okubufuna bankuumira mu ddwaaliro okumala emyezi mukaaga ku musanvu ne mpona siikoseero, na buli kati siddangamu kufuna buzibu bwonna, mpulira bulungi era sikozesa ddagala.
Mu kaweefube w’okukendeeza omuwendo gw’abaana abazaalibwa n’obulwadde bwa siikoseero mu ggwanga, minisitule y’ebyobulamu etongozza enteekateeka ey’obuwaze ey’okukebera abaanaabawere obulwadde bwa siikoseero gy’eyise ‘National Wide Mandatory Newborn Screening For Sickle Cell’.

Byamukama (ku kkono) bw’ali kati, wano yali ne Dr. Charles Olaro akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu.
Ng’atongoza enteekateeka eno ku Minisitule y’ebyobulamu omuteesiteesi omukulu mu minisitule eno, Dr. Diana Kanzira Atwine nga yateekerateekera Minisitule y’ebyobulamu yategeezezza nti, enteekateeka eno ekolebwa n’ekigendererwa okulaba ng’abaana abazaalibwa nga balina siikoseero bamanyibwa nga bukyali batandike eddagala erikkakkanya obulwadde buno n’okugemebwa endwadde ezitali zimu.
Kino kibayamba obutakosa bitundu bya mubiri eby’enkizo ekibasobozesa okukula nga tebalina buvune bwonna obuleetebwa siikoseero.
Ekirala, twagala okulaba nga tukendeeza ku muwendo gw’abaana abafa nga tebannaweza myaka etaano ku lwa siikoseero.
Mu nsi yonna, Uganda y’emu ku nsi essatu ezisingamu omuByamukamawendo gw’abaana abazaalibwa ne siikoseero nga kino kivudde ku baagalana obutasooka kwekebeza bulwadde buno.
Sso nga mu Uganda buli mwaka abaana emitwalo 200,000 n’okusoba bazaalibwa n’obulwadde buno, nga ku bano abaana 60,000-90,000 tebasussa mwaka etaano bafa.
Dr. Atwine era yasabye omukago ogutaba enzikiriza mu ggwanga ogwa Inter Religious Council n’ebifo byonna ebigatta abaagalana okutandika okusaba abaagalana ebbaluwa ya siikoseero kiyambeko okumalawo olumbe luno.
Yakubirizza Bannayuganda bonna nti, ekiseera kino bettanire okwekebeza siikoseero kuba okuziyiza kisinga okujjanjaba.
OKUNOONYEREZA
Dr. Deo Munube, omusawo w’abaana abalina siikoseero era omukugu mu kunoonyereza ku bulwadde buno e Mulago yategeezezza nti, kyennyamiza okuba nti, ku baana 200,000 abazaalBukeddeibwa ne siikoseero buli mwaka, 70-80 ku buli 100 bafa ssinga tebakeberebwa nga bukyali.
Era kyennyamiza okulaba na buli kati ekizibu kino kikyali kinene mu ggwanga. Omusujja gw’ensiri y’ensibuko y’okulinnyisa omuwendo gw’abantu abalina akasigo ka siikoseero oguli waggulu mu ggwanga bw’ogeraageranya n’amawanga agatwetoolodde okusinziira ku kunoonyereza.
Mu ngeri y’emu, siikoseero bwe bumu ku bulwadde obusinga okutta abaana abali wansi w’emyaka etaano mu ggwanga.
Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu ddwaaliro e Mulago, abaana abajja mu ddwaaliro n’omusujja ne bazuulibwamu omusujja gw’ensiri, ebitundu 25 ku buli 100 bazuulibwa nga balina siikoseero naye nga babadde tebakimanyi.
Eno y’ensonga lwaki buli mwana azaalibwa yeetaaga okukeberebwa obulwadde kya siikoseero n’atandikirawo obujjanjabi omuli:
l Okuweebwa eddagala eriziyiza obuwuka ‘penicillin prophlaxyis (PEN V)’.
l Okugemebwa endwadde ezitali zimu.
l Tubawa eddagala eriziyiza omusujja (fancida).
l Eddagala eriyambako okwongera ku bungi bw’omusaayi.
l Eddagala erikkakkanya n’okuziyiza obulwadde okubakosa (hydroxyurea).
Dr. Charles Olaro nga y’akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu akoowoola ebitongole eby’enjawulo okwongera okukwasizaako ekitongole ky’ebyobulamu okulaba nga bakozesa obukodyo bwe bumu obwakozesebwa okulwanyisa siriimu kiyambeko okulwanyisa siikoseero mu ggwanga.
Kye kitegeeza okuzaala omwana alina siikoseero
Omwana okuzaalibwa ng’alina obulwadde bwa siikoseero kitegeeza nti, bakadde be bombi baamwawulirako ku butoffaali obumulina sikoseero. Abazadde bombi bwe bw’atyo n’abufuna. Kino kitegeeza nti, ku buli lubuto maama lw’afuna, abeera n’emikisa 25 ku buli 100 okuzaala omwana alina siikoseero.
Ate omu ku bazadde bw’abeera talina kasigo ka siikoseero, mubeera n’emikisa 50 ku buli 100 okuzaala omwana alina obutoffaali bwa siikoseero wadde nga talwala era tebumukosa.
OKUSOOMOOZEBWA
l Ekizibu owa siikoseero kyasinga okuba nakyo kya kuzibikira misuwa naddala obusuwa obutono obutwala ebiriisa mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo.Omulwadde wa siikoseero abeera n’obutofaali nga tebugonda nga obwabulijjo okusobola okuyita mu busuwa obutono obwo kubanga omusaayi ogw’omuntu atalina siikoseero, okuyita mu kasuwa ako akatono, akatoffaali kano kalina engeri gye keemenyamenyamu okuyitamu ne katuuka. Ye owa siikoseero, obusuwa obwo buzibikira era kye bava bafuna obulumi kubanga buli lw’osalako omusaayi okugenda gye gulina okutuuka, we gwesibidde wasigalawo bulumi. Kino kivaako okusannyalala n’okufuna obulumi mu kifuba n’abeera nga tassa bulungi