Emirambo gy'aboluganda abasatu abafiira mu kabenje e South Africa gituusiddwa mu maka ga kitaabwe e Kawaala wakati mu miranga n'okwaziirana.

Emirambo nga gituuka ewaka
Ab'oluganda bano abafiira mu kabenje e South Africa kuliko; Lilian Namwanje 32, Raymond Ssenabulya 29 ne Sheilah Mukasa 22 abadde asoma univasite, nga bonna baana ba mulangira Joseph Wasajja Kitaawe ne Jamirah Mukasa, omutuuze mu zooni ya Kawaala II, mu muluka gw'e Kasubi, ggombolola y'e Lubaga.
Bafiira mu kabenje e South Africa nga January 10, 2026 bwebaali bagenda ku Kitebe Kya Uganda e South Africa okuzza obujja Passport ya munnaabwe.

Aba Rhino Funeral Service nga batuusa emirambo ewaka
Twaha Kasozi, ssentebe wa ba nnayuganda e South Africa agambye nti, abagenzi ababadde bababeera ku kyalo Naas baafa nga 10 January, bwebaali bava okuzza Visa ya munaabwe obujja, ente eyali mu luguudo yeeyavaako akabenje emmotoka nezetomera bwenyi ku bwenyi ku kyalo Nkomazi mu Municipality Nkomazi.9

Aba Rhino funeral Service nga batuusa emirambo ewaka
Aboogeddeko ng'abavubuka ababadde n'empisa n'eddiini.
E South Africa baatwalibwayo nyabwe Jamirah Mukasa, nga gyabadde abeera era bonna nga bweyabatwala baafudde lumu. Bagenda kuziikibwa enkya ku lw'okuna ku kyalo Ssenya e Masaka