Akulira Makerere University Business School (MUBS) , Polof. Moses Muhwezi ayanjudde enteekateka engazi mwe bagenda okutandika okubangulira bannabyabusuubuzi mu lulimi olunnansi.
Yawadde eky'okulabirako eky'eggwanga lya Budaaki nti bo okusinga abantu baabwe babasomeseza mu lulimi lwabwe lwe bategeeera obulungi ng'enkola y'emu gye baagala okutandika kuno basobole okusikiriza abasuubuzi okuva mu butale nga aka St. Balikuddembe , Nakawa , mu Kikuubo n'obulala bwonna okugenda okubangulwa mu by'obusuubuzi ng'enkola eno baagala n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku byenjigiriza mu ggwanga kigirowoozeeko eyisibwe etandike okuteekebwa mu nkola.

Pulofeesa Muhwezi okwogera bino yabadde ayaniriza abayizi n'abasomesa b'ebyobusuubuzi okuva mu ttendekero erya Belgium erya Thomas More nga bano bagenda kumala kuno wiiki nga bakubaganya ebirowoozo ne bannaabwe abaakuno ku ngeri y'okwongera obuyiiya munsi y'ebyobusuubuzi okumalawo okusomoozebwa kw'ebbula ly'emirimu naddala mu bavubuka.
Kakensa mu kubangula abayizi ku by'obusuubuzi Remmie Kirunda Namutangula yannyonnyode nti mu nteekateka eno abayizi babayigiriza okuddayo ku bitundu gye bawangaalira ne balaba ebizibu ebiriyo ebyekuusa ku byenfuna olwo ne batakula emitwe okusala entotto ku ngeri y'okubigonjoolamu nga beeyambisa obuyiiya bwe basomeseddwa.
Abayizi baweereddwa omukisa nti abo abanaabeera n'obuyiiya obunaakira ku bw'abalala, baakuweebwa obuwagizi basobole obukulaakulanya okutuuka ku mutindo ogwa waggulu abantu ba bulijjo nabo we basobolera okubuganyulwamu.
