OMUKYALA bw’ofuna olubuto n’okitegeera kiba kirungi n’oddukira mangu mu bakugu okwewala okufuna obuzibu obuyinza n’okukosa omwana wo ali munda.
Embeera eteri ya bulijjo bw’etuuka ku bulamu bwo n’ogigayaalirira kiyinza okukukosa ne kivaako okuzaala omwana atannatuuka.
Dr. Elizabeth Nionzima okuva ku ddwaaliro lya Mulago Specialized Women and Neonatal Hospital agamba nti, abaana abatuuse bazaalibwa oluvannyuma lwa wiiki 37.
Omwana eyeetonze obulungi ajjira mu bbanga eriri wakati wa wiiki 37 ne wiiki 40 era oyo aba atuuse okuzaalibwa, wabula oyo azaalibwa wansi wa wiiki ezo aba tannatuuka.
Dr. Nionzima agamba nti, mu Uganda, abakyala abali wakati 10-15 ku 100 bafuna ebisa nga tebannatuuka kuzaala wabula si kya tteeka nti, abakyala bonna abafuna ebisa nga tebannatuuka kuzaala ddala bazaala abaana abo singa abasawo bakyanguyira ne batema empenda ezibataasa.
Era abazaala abaana abatannatuuka bali wa 5 ne 10 mu mwaka.
KW’OLABIRA EMBEERA Y’OKUZAALA OMWANA ATANNATUUKA
Dr. Nionzima annyonnyola nti, olumu wabaawo obubonero wabula ate mu mbeera endala tebulabika. Waliwo :
1 Omukyala bw’aba alumizibwa olubuto olwa wansi oba omugongo, wano obuzibu obukireeta buba bulina okumanyibwa kuba buno bubeera bubonero bwa mukyala atuuse okuzaala nga wano buba bulina okujjanjabwa amangu.
2 Okuzimba n’okukaluba olubuto nga bwe lukkakkana: Omukyala bw’afuna okulumwa kw’olubuto olwa wansi ng’agenda mu nsonga nga wiiki 37 tezinnawera alina okugenda mu ddwaaliro mu bwangu.
3 Abamu bawulira puleesa mu kkubo omwana waayita ng’alingaayagala okufuluma.
4 Okuvaamu omusaayi.
5 Okuvaamu amazzi g’ekikyala ag’engeri yonna nga gakyusa endabika n’okuyitirira obungi.

Dr. Elizabeth Nionzima.
EBIYINZA OKUVAAKO OKUZAALA OMWANA ATANNATUUKA1 Omukyala bw’aba yali azadde ku mwana atannatuuka emikisa gy’okuddamu okuzaala omwana ow’ekika bwekiti giba mingi. Dr. Nionzima agamba nti, omukyala bw’afuna okusoomoozebwa kuno kirungi okuyisaawo emyaka ebiri nga tannafuna lubuto lulala olw’ensonga zino:
l Omubiri guba tegunnatereera ng’ebinywa bikyali binafu okuwanirira omwana omulala.
l Abakyala abamu okutereera baba beetaaga okulya emmere erimu ebiriisa eby’enjawulo okugumya ebinywa n’omubiri okubeera omulamu obulungi okugeza abamu bavaamu omusaayi mungi kati bw’addamu okufuna olubuto amangu nga tannatereera kiyinza okumukosa.
3 Situleesi okuva ku lubuto oluyise oba situleesi omukyala asobola okugiggya ku mbeera gy’awangaaliramu era obusimu bwa situleesi obumu buleeta ebisa by’okuzaala.
2 Okukola emirimu emikakali naddala okwetikka ebizito n’okukutama ekisusse. Kino kiyinza okuteeka amaanyi ku nnabaana n’avaako okusindika omwana ebweru nga tannatuuka.
3 Omukyala okutulugunyizibwa, nga mu mbeera eno ayinza okukosebwa ku lubuto.
4 Embeera y’obulamu eyinza okuleeta obuzibu okugeza obulwadde bwa puleesa. Wano omwana asobola okuba nga takula oba nga ali mu katyabaga k’okufa.
Puleesa esobola okukendeeza omusaayi ogutambula okutuuka ku kisawo ekisitudde omwana n’omwana kennyini, ekyo kyokka kireeta ebisa era bw’atayambibwa kujjanjabwa kivaako okuzaala omwana atannatuuka.
5 Dr. Nionzima agamba nti, n’abasawo bennyini basobola okuleetawo embeera y’okuzaaza omukyala omwana atannatuuka nga bakirabye nti, obulamu bw’omwana oba obwa maama buli mu bulabe.
6 Ssukaali: Omukyala bw’abeera omulwadde wa ssukaali, abakugu ne batamwanguyira asobola okumuviirako okuzaala mu kiseera ekitannatuuka.
7 Omukyala omuzito okubeera ne yinfekisoni nga omusujja gw’ensiri, eza nnabaana oba yinfekisoni ezikwata mu muwaatwa omuyita omusulo.
8 Abakyala abamu omumwa gwa nnabaana okubeera okumpi oba nnabaana okubeera ennafu mu butonde bwayo nga yeggula mangu mu kiseera ekitali kituufu ng’omukyla ali lubuto. Oba omukyala okuba nga yalongoosebwako omumwa gwa nnabaana mu kiseera ekitali kyewala.Abakyala abamu nnabaana waabwe abeerako obuzibu. Mu kifo ky’okubeera ne nnabaana emu, abeera n’ebisenge bibiri omwana n’akulira mu kimu wabula nga tagyamu bulungi nga n’omusaayi tegutuukayo bulungi okusobozesa omwana okukula obulungi ekivaako kuvaamu.
10 Abakyala abalina ebizimba mu lubuto nga birwanagana n’omwana olw’obunene.
11 Abakyala abafuna embuto z’abaana abasukka mu omu (abalongo).
12 Omwenge, okufuuwa sigala n’ebiragalalagala. Bino bibeeramu k’emiko ezireeta ebisa, zikosa emisuwa egitambuza omusaayi okutuuka ku kisawo n’omwana yennyini era omusaayi bwe gukendeera kivaako okuzaala omwana atannatuuka.
BW’OKOLA OKWEWALA OKUZAALA OMWANA ATANNATUUKADr. Nionzima alaga bwe weewala obuzibu bw’okuzaala omwana atatuuse.
1 Okugenda mu ddwaaliro okunywa eddagala nga waakafuna olubuto. Eno abasawo bakukebera puleesa era bw’oba ogirina ne bakuwa eddagala. Bw’oba wagifunako ku mbuto ezaasooka ne bakola ekisoboka oleme okuddamu okugifuna.2 Omukyala bw’aba mulwadde wa ssukaali, abakugu basobola okulondoola ssukaali ono ng’omukyala tannafuna lubuto n’ataasibwa mangu.
3 Abatalina musaayi babawa eddagala okubayambako okugufuna omwana aleme kukosebwa.
4 Okukeberebwa yinfekisoni ey’ekika kyonna n’ojjanjabwa nga tennakosa mwana munda.
5 Okugenderera endya y’omukyala omuzito. Eri abatalina musaayi kirungi okulya emmere erina ekirungo kya iron nga enva endiirwa, ekibumba, emmere ey’empeke nga akalo.
Wabula kikulu okulya emmere erina ebirungo ebizimba omubiri, amasavu, vitamiini n’ebiwa omubiri amaanyi okugukuuma nga mulamu okusobola okusitula omwana.
EKIVAAKO ABAKYALA ABAMU OKUYISA MU BUDDE OBUTUUFU BWE BALINA OKUZAALIRAMUDr. Nionzima agamba nti, newankubadde abakyala abamu bafuna okusoomoozebwa kw’okuzaala abaaana abatannatuuka bulungi eriyo abatuuka mu kiseera ekituufu mwe basuubira okuzaalira wabula ne balemererwa nga kiva ku kuwa basawo obudde obukyamu mwe baafunira olubuto.
Obutonde bw’omukyala oyo obutafuna bisa ne bw’aba atuusizza okuzaala.
Engeri ebinywa bya nnabaana bwe byatondebwa.
Omwana okubeerako n’obuzibu.