BANNADDIINI okuva mu zimu ku disitulikitti ezikola Greater Mubende nga kuno kuliko Mityana , Kassanda ne Mubende bawanjagidde Pulezidenti Museveni nabo okuweebwa omukisa okwenyingiranga mu pulogulamu za gavumenti ezibeera zireeteddwa mu bitundu gye basumba .
Bagamba nti kino kyakuyambako okwongera okunnyikiza n'okulaba nti abantu bawansi batuusibwako mu bujjuvu ebyo gavumenti by'ebeera ebaweerezza .

Ssewava ng'ayogera ne bannaddiini mu Greater Mubende
Okwogera bino baasinzidde mu tawuni y'e Mubende mu nsisinkano n'abakungu okuva mu ofiisi ya Pulezidenti abagenda basisinkana bannaddiini okwetoloola eggwanga nga babatuma okulyowa emyoyo n'okukkakkanya emitima gy'abantu abayinza okuba nga bakyali mu kwennyamira oluvannyuma lw'okuwangulwa mu kalulu.
Disitulikitti Kadhi w'e Mubende, Sheikh Bashiri Muhammed Luwenda nga ajuliza ekitabo ekitukuvu ekya Kulaani yagambye nti Allah akubiriza abaddu be okukuuma obusungu, bw'atyo n'asaba wabeewo obutebenkevu mu mitima ne mu maka g'abantu yadde nga buli omu ayinza okuba nga yali awagira kibiina kya byabufuzi kirala .

Abamu ku bannadiini abeetabye mu lukung'aana
Yakkaatiriza nti eby'akalulu byaggwa kati y'essaawa buli omu ateeke amaanyi mu kukola n'ekigendererwa eky'okulwanyisa obwavu .
Joseph Ssewava okuva mu ofiisi ya Pulezidenti eyakulemberamu enteekateka eno ey'okusisinkana bannadiini yasabye abantu obutekubagiza naddala abo abaawangulwa mu kalulu, n'agamba nti basaanidde bakimanye nti eggwanga likyaliwo ate lirina kusigala nga lya mirembe.
Ye omubaka wa Pulezidenti e Mubende, Fred Nayebare yasabye bannadiini okutambuza enjiri ey'okuzza emitima gy'abantu baleme kuteekamu kyekubira yenna wabula bakikole n'omutima gumu.
Enteekateka eno ey'okusisinkana bannadiini esuubira okufundikirwa wiiki ejja mu disitulikiti zonna ezikola Greater Mubende