Amawulire

Eby'okusaanyaawo ffaamu n'okwagala okutwala ettaka ly'e Namusera bigenze wa Pulezidenti

OKUNOONYEREZA ku nkaayana ku ttaka lya Dr. Kaggwa e Kakiri n’abantu abaalumba ffaamu ye ne bagisaanyaawo ziyingidde amaka ga pulezidenti bwategeezezza nti, yazikwasizza ba mbega bayigge ba mafiya abaagala okutwala ebyapa bye.

Eby'okusaanyaawo ffaamu n'okwagala okutwala ettaka ly'e Namusera bigenze wa Pulezidenti
By: Hannington Nkalubo, Journalists @New Vision

OKUNOONYEREZA ku nkaayana ku ttaka lya Dr. Kaggwa e Kakiri n’abantu abaalumba ffaamu ye ne bagisaanyaawo ziyingidde amaka ga pulezidenti bwategeezezza nti, yazikwasizza ba mbega bayigge ba mafiya abaagala okutwala ebyapa bye.

Kino kiddiridde olutalo olumaze ebbanga nga luyinda ku ttaka lino eriwerako yiika 232 nga likwata ku byalo bibiri okuli Kakunyu ne Namusera ebisangibwa mu ggombolola y’e Mende mu disitulikiti y’e Wakiso.

Wiiki ewedde ekibinja kya bakanyama bazzeemu ne balumba emu ku nnyumba eyasigala ku ttaka lino ne bagikoona. Waabaddewo olutalo ne basajja ba Dr. Kaggwa bwe baataddeewo embeera. Kino kyatabudde Dr. Kaggwa n’addamu
ne yeekubira enduulu mu maka ga Pulezidenti Museveni bamutaase.

Nga December 14, 2025, Dr. Kaggwa yawandiikira minisita omubeezi atwala eby’ettaka ebbaluwa nga yeemulugunya nti, tayambiddwa kubanga ettaka lye baagala okumutwalako yaligula na ssente ze ng’akyali mukozi wa Gavumenti kyokka kati waliwo bamafiya abatambula mu ofiisi za Gavumenti bamulwanyise balimutwaleko.

Yeemulugunya nti , we yaligulira abamu ku baalinako ebibanja yabasasula ne bamukolera n’endagaano kyokka olw’okuba waliwo abantu ababali emabega kati bakolagana n’ebibinja by’abamenyi b’amateeka abamulumba ne basaanyaawo ebintu bye.

Tags:
Dr Kaggwa
Ffaamu
Ttaka
Bamafiya

Emboozi Ezifanagana